Okuva 32:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi yʼe Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”

2Alooni nʼabaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.”

3Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ezʼoku matu, ne bazireetera Alooni.

4 Alooni nʼazisaanuusa; zaabu eyavaamu nʼagibumbamu ennyana, ngʼagirongoosa nʼekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi yʼe Misiri!”

5Alooni bwe yalaba ebyo, nʼazimba ekyoto mu maaso gʼennyana, nʼalyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera mukama embaga.”

6Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta nʼebiweebwayo olwʼemirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.

7Mukama nʼagamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi eyʼe Misiri boonoonye;

8bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi yʼe Misiri!’ ”

9Mukama nʼagamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu.

10Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”

11Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, nʼagamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi yʼe Misiri nʼobuyinza, awamu nʼomukono gwo ogwʼamaanyi?

12Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ngʼagenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo.

13Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, nʼobagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu, era nʼensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ”

14Mukama akabi ke yali ategese okukola abantu be nʼatakaleeta.

15Awo Musa nʼaserengeta okuva ku lusozi ngʼakutte mu mikono gye ebipande ebibiri ebyʼEndagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi.

16Ebipande byakolebwa Katonda, nʼebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo.

17Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lwʼabantu nga baleekaana, nʼagamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ngʼokwʼolutalo.”

18Naye nʼamuddamu nti, “Siwulira maloboozi galeekaana olwʼobuwanguzi, oba amaloboozi gʼokwaziirana olwʼokuwangulwa, naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”

19Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, nʼalengera ennyana, nʼalaba nʼamazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, nʼasuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi wʼolusozi.

20Nʼaddira ennyana gye baali bakoze nʼagyokya mu muliro nʼagisekulasekula, nʼagimerungulira ddala ngʼolufuufu; olufuufu nʼalumansa ku mazzi nʼagawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.

21Awo Musa nʼagamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, nʼobaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?”

22Alooni nʼamuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ngʼemitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona.

23Baŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi yʼe Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’

24Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”

25Awo Musa bwe yalaba ngʼabantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ngʼabalabe baabwe babasekerera,

26nʼayimirira mu mulyango gwʼolusiisira, nʼagamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira wʼali.

27Nʼabagamba nti, “Bwʼati Mukama Katonda wa Isirayiri bwʼayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ”

28Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ngʼenkumi ssatu ne battibwa.

29Awo Musa nʼagamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”

30Enkeera Musa nʼagamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.”

31Bwʼatyo Musa nʼaddayo eri Mukama, nʼagamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu!

32 Bwʼoba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo kyʼowandiise.”

33Naye Mukama nʼagamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange.

34Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olwʼekibi kyabwe.”

35Awo Mukama nʼaleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.