Okuva 33:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Vva mu kifo kino ogende, ggwe nʼabantu be waggya mu nsi yʼe Misiri, olage mu nsi gye nalayirira Ibulayimu ne Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’

2Ndiweereza malayika abakulemberenga; era ndigobamu Abakanani, nʼAbamoli, nʼAbakiiti, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi nʼAbayebusi.

3Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata nʼomubisi gwʼenjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu abʼensingo enkakanyavu.”

4Abantu bwe baawulira amawulire ago agʼennaku, ne bakungubaga ne watabaawo ayambala ebyʼomu matu wadde ebyʼoku mikono ebyokwewoomya.

5Kubanga Mukama yali alagidde Musa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Mulina omutima omukakanyavu, era singa ntambula nammwe okumala akaseera wadde katono katya, nzija kubazikiriza. Kale kaakano mweyambulemu ebyokwewoomya byammwe, ndyoke ndabe kye nnaakola.’ ”

6Bwe batyo abaana ba Isirayiri ne beeyambulamu ebyʼobugagga byabwe nga bali ku lusozi Kolebu.

7Kale, Musa yaddiranga eweema nʼagisimba ebweru wʼolusiisira, ewala ddala nʼolusiisira; nʼagiyita Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Ne buli eyeetaaganga Mukama, ngʼagenda awali Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, eyali ebweru wʼolusiisira.

8Era buli Musa lwe yafulumanga nʼalaga eri Eweema, abantu bonna nga bayimirira mu miryango gyʼeweema zaabwe ne batunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema.

9Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi eyʼekire nʼekka nʼeyimirira mu mulyango gwʼEweema; Mukama nʼalyoka ayogera ne Musa.

10Abantu bwe baalabanga ngʼempagi eyʼekire eyimiridde mu mulyango gwʼEweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gwʼeweema ye.

11Bwʼatyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ngʼomuntu bwʼayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye nʼasigalayo mu Weema.

12Musa nʼagamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gwʼonontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu nʼerinnya lyo, era onsanyusizza.’

13Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”

14Mukama nʼaddamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”

15Musa nʼamugamba nti, “Obanga toogende naffe, totuggya wano.

16Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze nʼabantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze nʼabantu bo, nga twawukana ku bantu bonna abʼoku nsi?”

17Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Nzija kukola ekyo kyennyini kyʼosabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu nʼerinnya lyo.”

18Musa nʼagamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”

19 Mukama nʼagamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, MUKAMA. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.”

20Era nʼagamba nti, “Naye toyinza kulaba maaso gange, kubanga tewali muntu antunulako nʼaba mulamu.”

21Mukama nʼagamba nti, “Waliwo wano okumpi nange ekifo ku lwazi kwʼonooyimirira.

22Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo.

23Oluvannyuma omukono gwange nnaaguggyawo, nʼolaba amabega gange; naye tojja kulaba ku maaso gange.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.