Okuva 34:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Teekateeka ebipande bibiri ebyʼamayinja nga biri ebyasooka, nange nnaabiwandiikako ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya.

2Weetegeke mu makya, ojje mu makya ago olinnye waggulu ku lusozi Sinaayi, olyoke onneeyanjulire eyo ku ntikko yʼolusozi.

3Tewasaana kubaawo muntu ajja naawe, era ku lusozi wonna wonna tewasaana kulabikawo muntu nʼomu; era nʼamagana nʼebisibo byʼendiga tebisaana kuliira mu maaso ga lusozi.”

4Bwʼatyo Musa nʼatema mu mayinja ebipande bibiri nga bifaanana nga biri ebyasooka; nʼakeera mu makya nʼalinnya ku lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira, ngʼasitudde nʼebipande ebyʼamayinja byombi mu mikono gye.

5Awo Mukama nʼakkira mu kire, nʼayimirira awo ne Musa, nʼalangirira erinnya lye, MUKAMA.

6Mukama nʼayita mu maaso ga Musa nʼagamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa nʼokusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa nʼokwagala okutaggwaawo.

7Akuuma okwagala eri enkumi nʼenkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, nʼobujeemu bwabwe, nʼebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana nʼabazzukulu olwʼebisobyo bya bakadde baabwe nʼebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna.”

8Amangwago Musa nʼavuunama wansi, nʼasinza.

9Nʼagamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ngʼabantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe nʼebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo abʼobusika bwo.”

10Awo Mukama nʼaddamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna bʼoli nabo banaalaba ebyʼekitalo Mukama byʼanaakolera mu ggwe.”

11“Gondera bye nkulagira leero. Nange, gye mulaga, nzija kugobayo Abamoli, nʼAbakanani, nʼAbakiiti, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi.

12Kirungi weekuume oleme kukola ndagaano nʼabatuuze abʼomu nsi gyʼolagamu, kubanga bayinza okubafuukira omutego.

13 Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, nʼotemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza.

14Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.

15“Temukolanga ndagaano eyʼokukolagana nʼabatuuze bʼomu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo nʼabayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo.

16Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

17“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.”

18“Embaga eyʼEmigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri.

19“Ebiggulanda byonna byange, nʼennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga.

20Endogoyi embereberye onoozinunulanga nʼendiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo nʼogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.

21“Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olwʼomusanvu nʼowummula; ne mu biseera ebyʼokukabala nʼebyokukungula onoowummulanga.

22“Onookwatanga Embaga eya Wiiki, nʼEmbaga eyʼAmakungula gʼEbibala Ebibereberye ebyʼEŋŋaano, nʼEmbaga eyʼOkuyingiza Amakungula ku nkomerero yʼomwaka.

23Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka.

24Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya nʼensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.

25“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka eyʼEmbaga yʼOkuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.

26“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. “Omwana gwʼembuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”

27Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ngʼebigambo ebyo bwe bigamba.”

28Musa nʼabeera eyo ne Mukama, nʼamalayo emisana amakumi ana nʼebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. Nʼawandiika ku bipande ebigambo ebyʼEndagaano, ge Mateeka Ekkumi.

29Musa bwe yaserengeta okuva ku lusozi Sinaayi ngʼakutte mu ngalo ze ebipande byombi ebyʼEndagaano, teyakimanya ngʼobwenyi bwe bwali bumasamasa kubanga yali ayogedde ne Katonda.

30Era Alooni nʼabaana ba Isirayiri bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ngʼobwenyi bwe bumasamasa; ne batya okumusemberera.

31Naye Musa nʼabayita; bwʼatyo Alooni nʼabakulembeze bʼabantu ne bajja gyʼali, Musa nʼayogera nabo.

32Oluvannyuma abaana ba Isirayiri bonna ne basembera, nʼabategeeza amateeka gonna Mukama ge yamulagira ku lusozi Sinaayi.

33Awo Musa bwe yamala okwogera nabo, nʼabikka obwenyi bwe olugoye.

34Naye Musa bwe yabanga agenda awali Mukama okwogera naye, ngʼolugoye olubikka obwenyi bwe alwebikkula okutuusa lwe yavangayo. Bwe yakomangawo okutegeeza abaana ba Isirayiri Mukama byʼamulagidde,

35baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bwʼatyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri Mukama okwogera naye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.