1Awo Musa nʼakuŋŋaanya ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri, nʼabagamba nti, “Bino bye bintu Mukama byʼabalagidde okukola.
2
3Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”
4Musa nʼagamba ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama kyalagidde.
5Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bwʼayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama: zaabu, ffeeza nʼekikomo;
6nʼolugoye olwa bbululu, nʼolwa kakobe, nʼolumyufu, nʼolugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi; nʼobwoya bwʼembuzi,
7nʼamaliba gʼendiga amakunye amannyike mu langi emyufu, nʼolubaawo lwa akasiya,
8nʼamafuta gʼettaala, nʼebyakaloosa ebyʼokukozesa mu mafuta agʼokwawula, ne mu bubaane obwʼokunyookeza,
9
10“Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama byʼatulagidde:
11Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa nʼolugoye lwayo nʼekibikkako, nʼebisiba, nʼembaawo, nʼemikiikiro, nʼempagi zaayo nʼebya wansi mwʼetuula;
12Essanduuko eyʼEndagaano nʼemisituliro gyayo, ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira, nʼeggigi erigisiikiriza;
13emmeeza nʼemisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, nʼemigaati gya Mukama egyʼokulaga;
14ekikondo kyʼettaala nʼebigenderako, ettaala nʼamafuta gaazo;
15ekyoto ekyʼokwoterezaamu obubaane nʼemisituliro gyakyo; amafuta agʼokwawula, nʼobubaane obwʼakawoowo; olutimbe olwʼomu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;
16ekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa nʼekitindiro kyakyo ekyʼekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako; ebbensani eyʼekikomo ne kyʼetuulako;
17entimbe ezʼoku bisenge ebyʼomu luggya nʼempagi zaazo ne mwe zituula; nʼolutimbe olwʼomu mulyango ogulaga mu luggya;
18enkondo zʼeweema nʼezʼomu luggya nʼemiguwa gyazo;
19ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, nʼebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”
20Awo abantu bonna abʼekibiina kyʼabaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda.
21Buli eyayagala, era ngʼomwoyo gwe bwe gwamukubiriza, nʼawaayo eri Mukama ebyʼokukozesa Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu nʼebikozesebwamu byonna, nʼebyʼokukozesa ebyambalo ebitukuvu.
22Abasajja nʼabakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso ebyʼomuwendo, empeta ezʼomu matu, nʼempeta ezʼoku ngalo, nʼebikomo, nʼebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu nʼawaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama.
23Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olwʼobwoya bwʼembuzi; oba amaliba amakunye agʼendiga ensajja oba agʼembuzi, byonna ne babireeta.
24Buli omu eyalina ekyʼokuwaayo ekya ffeeza oba ekyʼekikomo, yakireeta nʼakiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta nʼaluwaayo.
25Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga nʼengalo zaabwe ewuzi eza bbululu, nʼeza kakobe, nʼemyufu nʼeza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo.
26Era nʼabakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bwʼembuzi.
27Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, nʼamayinja amalala agʼomuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi ne ku kyʼomu kifuba.
28Era ne baleeta nʼebyakaloosa, nʼamafuta gʼettaala, nʼamafuta agʼokwawula nʼokukozesa ku bubaane.
29Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja nʼabakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olwʼomulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ngʼekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.
30Awo Musa nʼagamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, owʼomu kika kya Yuda.
31Mukama amujjuzza Omwoyo we, nʼobusobozi, nʼamagezi, nʼokuteteenkanya, nʼokutegeera, awamu nʼobukozi obwa buli ngeri;
32ayiiye amajjolobera agʼokukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo;
33era nʼagʼokusalwa mu mayinja agʼokutona, era nʼagʼokwolebwa mu miti, nʼokukola buli ngeri yonna eyʼamagezi.
34Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki owʼomu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala.
35Abajjuzza amagezi agʼobukugu mu mitima gyabwe okukola ebyʼemikono ebya buli ngeri ngʼebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi bʼemidalizo nʼebimuli mu wuzi eza bbululu, nʼeza kakobe nʼemyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri nʼabatetenkanya amajjolobera.”