1“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gwʼawadde obusobozi nʼamagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bwʼalagidde.”
2Awo Musa nʼayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi nʼobusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola.
3Musa nʼabakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde ebyʼokukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya.
4Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya Mukama ne bava ku mirimu gyabwe,
5ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”
6Awo Musa nʼawa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olwʼomulimu gwʼEweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo;
7kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era nʼokufikkawo.
8Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola eweema ya Mukama nʼemitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu nʼebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu nʼamagezi mangi.
9Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ngʼomutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri nʼekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
10Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, nʼemitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo.
11Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gwʼomutanda gwʼentimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu ekyʼentimbe etaano, era ne batunga nʼeŋŋango endala mu ngeri yʼemu ku ludda olulala.
12Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gwʼomutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye.
13Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ezʼemitanda nʼebikwaso; eweema ya Mukama nʼebeera wamu nga nnamba.
14Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bwʼembuzi ne bazibikka ku Weema.
15Entimbe zonna ekkumi nʼolumu zaali zenkanankana: ngʼobuwanvu mita kkumi na ssatu nʼekitundu, obugazi zaali mita emu nʼobutundu munaana.
16Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, nʼentimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo.
17Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gwʼentimbe ekomererayo ku bwazo, nʼeŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gwʼentimbe omulala ku bwazo.
18Ne bakola ebikwaso ebyʼekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ezʼentimbe ezo ngʼekintu ekimu.
19Ne bakola ekibikka ku Weema mu maliba gʼendiga ennume nga gannyikiddwa mu langi emyufu; okwo ne babikkako amaliba gʼente eyʼomu nnyanja.
20Awo ne babajja embaawo mu muti gwa akasiya ne baziyimiriza ne zikola entobo ya Weema.
21Buli lubaawo lwali mita nnya nʼekitundu obuwanvu, ate ngʼobugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu.
22Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obwʼokukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ezʼentobo ya Weema ya Mukama bwe baazikola bwe batyo.
23Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olwʼobukiikaddyo obwʼEweema,
24era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi wʼobubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
25Ate ku ludda olwʼobukiikakkono olwʼEweema ya Mukama ne bakolerayo embaawo amakumi abiri,
26nʼentobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo.
27Ne bakola embaawo mukaaga, ne baziteeka ku ludda olwʼemabega wa Weema, lwe lwʼebugwanjuba;
28era ne bakola embaawo endala bbiri ne bazissa ku nsonda ezʼoku ludda olwo olwʼebugwanjuba.
29Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza nʼempeta.
30Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, nʼentobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri.
31Ne bakola emikiikiro mu muti gwa akasiya. Emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu,
32nʼemikiikiro etaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, nʼemikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku ludda olwʼemabega wa Weema olwʼebugwanjuba.
33Ne bassaayo omulabba nga guyita wakati wʼembaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala.
34Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne bakola empeta eza zaabu ne bazisibisa emikiikiro; nʼemikiikiro nagyo ne bagibikkako zaabu.
35Baakola eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi alangiddwa; era omukozi omukugu nʼatungiramu bakerubi.
36Ne baliwanika nʼamalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezaabajjibwa mu muti gwa akasiya, nga zibikkiddwako zaabu, era nga zisimbiddwa mu ntobo eza ffeeza.
37Ne bakola olutimbe olwʼomu mulyango gwa Weema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu alangiddwa obulungi.
38Ne balukolera empagi ttaano nga bazibazze mu muti gwa akasiya, ne baziteekako nʼamalobo gaazo. Ne babikka zaabu kungulu ku mpagi ne ku bisiba byazo. Entobo zaazo ettaano ne bazikola mu kikomo.