1Awo Bezaaleeri nʼakola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ngʼobuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, nʼobugazi sentimita nkaaga mu musanvu, nʼobugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu.
2Nʼagibikkako zaabu omuka ennyo kungulu ne munda, era nʼagyetoolooza omuge ogwa zaabu.
3Nʼagiweeseza empeta nnya eza zaabu, nʼazisiba ku magulu gaayo ana, ngʼempeta ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu nʼendala ebbiri ku ludda lwayo olulala.
4Nʼabajja emisituliro mu muti ogwa akasiya, nʼagibikkako zaabu,
5nʼagisonseka mu mpeta ziri okusituzanga essanduuko.
6Nʼakolerako ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo bwali mita emu ne desimoolo emu, nʼobugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
7Nʼakolerako ne bakerubi babiri mu zaabu omuweese ku njuyi ebbiri ezʼekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira.
8Kerubi omu yamuteeka ku ludda lumu olwʼekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira, ne kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga bakerubi bombi beekutte wamu nʼekisaanikirako, ye ntebe eyʼokusaasira.
9Ebiwaawaatiro bya bakerubi yabikola nga bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikirizza ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira. Bakerubi ne batunulagana nga boolekedde ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira.
10Nʼakola nʼemmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, nʼobugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, nʼobugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
11Nʼagibikkako zaabu omuka ennyo, era nʼagyetoolooza omuge ogwa zaabu.
12Nʼagikolerako olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, nʼomuge ogwa zaabu okwebungulula olukugiro olwo.
13Nʼaweesa empeta nnya eza zaabu, nʼazisiba mu nsonda ennya awali amagulu gaayo ana.
14Empeta ezo yazissa kumpi nʼolukugiro ziyisibwemu emisituliro gyʼemmeeza.
15Nʼakola emisituliro gyʼemmeeza mu muti gwa akasiya, nʼagibikkako zaabu.
16Nʼakola mu zaabu omuka, ebikozesebwa ebyʼokubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, nʼebijiiko byako, nʼebibya ebyʼokufukanga ebiweebwayo ebyʼokunywa.
17Yakola ekikondo kyʼettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo nʼenduli, nʼebikopo ebifaanana ngʼebimuli, amatabi nʼemitunsi nʼebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba.
18Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ngʼomutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu nʼamalala asatu nga gali ku ludda olulala.
19Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ngʼebimuli byʼalumondi nʼemitunsi nʼebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, nʼebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo kyʼettaala lwe gaabuna.
20Ku kikondo kyʼettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ngʼebimuli byʼalumondi nʼemitunsi gyabyo nʼebimuli byako.
21Omutunsi ogumu gwali wansi wʼamatabi abiri agava ku kikondo kyʼettaala, nʼomuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi wʼamatabi abiri agaddirira, nʼomutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi wʼamatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna.
22Emitunsi nʼamatabi gaako yabikola bumu nʼekikondo kyʼettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.
23Ekikondo kyʼettaala nʼakikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, nʼessowaani ezʼokussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka.
24Ekikondo kyʼettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.
25Yakola ekyoto, mu miti gyʼakasiya, okwoterezangako obubaane, nga kyenkanankana sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; nʼobugulumivu bwa sentimita kyenda; nʼamayembe gaakyo nga gali mu muti gumu nakyo.
26Ekyoto yakisiigako zaabu omuka kyonna, waggulu ne mu mbiriizi ne ku mayembe, nʼakolerako omuge ogwa zaabu okukyebungulula.
27Wansi wʼomuge mu mbiriizi zʼekyoto zombi, yakolerako empeta bbiri eza zaabu, okuyisangamu emisituliro gyakyo nga wabaddewo gye kitwalibwa.
28Emisituliro yagikola mu muti gwa akasiya, nʼagisiigako zaabu.
29Nʼatabula amafuta amatukuvu agʼokwawula, nʼateekateeka obubaane obulongosebbwa ennyo, ngʼabutabudde bulungi ngʼomukugu mu byakaloosa bwe yandikoze.