1
2Awo ne bakola ekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange.
3Ne baweesa zaabu eyʼoluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu nʼewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa nʼobukugu.
4Ekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera ebyʼokubibegabega bibiri nga bitungiddwa wʼekoma, nʼegattibwa bulungi.
5Ne bakola omusipi gwayo nʼamagezi mangi ngʼagaakola ekkanzu eyʼobwakabona, nʼebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
6Ne baddira amayinja ga enuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ngʼamayinja gawandiikiddwako, ngʼempeta bwʼewandiikwako, amannya gʼabaana ba Isirayiri.
7Ne bagakwasiza ku byokubibegabega ebyʼekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja gʼekijjukizo kyʼabaana ba Isirayiri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
8Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ngʼogwʼekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange.
9Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati.
10Ne batungirako ennyiriri nnya ezʼamayinja agʼomuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo;
11ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi;
12ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: yankiso, ne sebu, ne amesusito;
13ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu.
14Waaliwo amayinja agʼomuwendo kkumi nʼabiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya gʼabaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ngʼobubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya gʼebika ekkumi nʼebibiri.
15Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ngʼemiguwa, nga za zaabu omuka;
16ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu nʼempeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egyʼekyomu kifuba.
17Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gyʼekyʼomu kifuba.
18Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ezʼenjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso gʼebyʼokubibegabega byombi ebyʼekkanzu eyʼobwakabona eya efodi.
19Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egyʼekyomu kifuba ku luuyi olwʼomunda olwali luliraanye ekkanzu eyʼobwakabona eya efodi.
20Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi ebyʼebyʼokubibegabega ebyʼekkanzu eyʼobwakabona eya efodi, wagguluko okumpi nʼoluzizi lwʼomusipi lwʼekkanzu eyʼobwakabona eya efodi.
21Baasiba empeta ezʼoku kyomukifuba wamu nʼempeta zʼekkanzu eyʼobwakabona eya efodi nʼakaguwa aka bbululu, ne bakagatta nʼomusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu eyʼobwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
22Baakola ekyambalo ekyʼomunda mu kkanzu eyʼobwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna.
23Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omwʼokuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ngʼomuleera kireme okuyulika.
24Okwetooloola ebirenge byʼekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi.
25Era ne bakola nʼobude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera;
26baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge byʼekyambalo ekyo ekyʼokuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
27Era ne bakolera Alooni nʼabaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi.
28Ne bakola nʼekitambaala ekyʼoku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era nʼenkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola nʼempale mu linena omulebevu omulungi omulange,
29nʼomusipi mu linena omulebevu omulungi omulange owʼewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ngʼomudalizo nʼamagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30Era ne bakola akapande akʼengule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bwʼowandiika ku kabonero, nti: MUTUKUVU WA MUKAMA.
31Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala kyʼoku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.
32Bwe gutyo omulimu gwonna ogwʼokukola Eweema ya Mukama, eweema eyʼOkusisinkanirangamu ne guggwa; ngʼabaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
33Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa; Eweema ya Mukama yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, nʼembaawo, nʼemikiikiro, nʼempagi zaayo, nʼebituurwamu;
34ekibikkako ekyʼamaliba gʼendiga amakunye amannyike mu langi emyufu, nʼamaliba gʼembuzi amakunye, nʼeggigi eryʼokutimba;
35Essanduuko eyʼEndagaano nʼemisituliro gyayo nʼekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira;
36emmeeza ne byonna ebigibeerako, nʼemigaati gya Mukama egyʼolubeerera;
37ekikondo kyʼettaala ekya zaabu omuka, nʼettaala zaako nʼebigenderako ebikozesebwa, nʼamafuta gaazo;
38ekyoto ekya zaabu, amafuta agʼokwawula nʼobubaane obwʼakawoowo, nʼolutimbe olwʼomulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;
39ekyoto ekyʼekikomo nʼekitindiro kyakyo ekyʼekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako; ebbensani ne kyʼetuulamu;
40entimbe ezʼoku bisenge, ebyʼomu luggya nʼempagi zaazo ne mwe zituula, nʼolutimbe olwʼomu mulyango ogulaga mu luggya, emiguwa gyalwo nʼenkondo zaalwo; ne byonna ebikozesebwa olwʼemirimu gyʼomu Weema ya Mukama, eweema eyʼOkusisinkanirangamu;
41ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, nʼebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.
42Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola.
43Awo Musa nʼakebera omulimu gwonna, era nʼalaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa nʼabasabira omukisa.