Okuva 4:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Musa nʼaddamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”

2 Awo Mukama nʼamubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?” Nʼaddamu nti, “Muggo.”

3Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Gusuule wansi.” Musa nʼagusuula wansi; ne gufuuka omusota, nʼagudduka!

4Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” Nʼagolola omukono gwe nʼagukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe.

5Mukama nʼamugamba nti, “Bwʼolikola bwʼotyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”

6 Mukama nʼamugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Nʼayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ngʼomuzira.

7Ate nʼamugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa nʼazzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ngʼomubiri gwe ogwa bulijjo.

8Katonda nʼagamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri.

9Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga nʼogayiwa ku lukalu; amazzi ago gʼolisena mu mugga, galifuuka omusaayi ngʼogayiye ku lukalu.”

10Awo Musa nʼagamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda nʼedda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.”

11Mukama nʼamuddamu nti, “Ani yakola akamwa kʼomuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, nʼabatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama?”

12“Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ngʼoyogera, era nnaakuyigirizanga byʼonooyogeranga.”

13Naye Musa nʼagamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.”

14Mukama nʼasunguwalira nnyo Musa, nʼamugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gyʼoli, era bwʼanaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe.

15Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga kyʼonoomugambanga, nange nʼabayambanga mwembi, ne mbayigiriza ekyʼokukola.

16Yʼanaakwogereranga eri abantu, ngʼabategeeza bye wandiyogedde; ggwe nʼoba nga Katonda gyʼali, ngʼomutegeezanga byʼanaayogeranga.

17Era oligenda nʼomuggo guno, ngʼogukutte mu mukono gwo; gwʼonookozesanga ebyamagero.”

18Awo Musa nʼaddayo eri Yesero, kitaawe wa mukazi we nʼamugamba nti, “Nkusaba onzikirize ŋŋende ndabe obanga baganda bange e Misiri bakyali balamu.” Yesero nʼaddamu Musa nti, “Genda mirembe.”

19Awo Mukama nʼayogera ne Musa e Midiyaani nti, “Genda, oddeyo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta, baafa.”

20Musa nʼaddira mukyala we nʼabaana be, nʼabassa ku ndogoyi, nʼasitula okuddayo mu nsi yʼe Misiri, ngʼakutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.

21Mukama nʼagamba Musa nti, “Bwʼoddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda.

22Falaawo omugambanga bwʼoti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye;

23 Era nkulagira oleke omwana wange agende ampeereze; naye singa ogaana okumuleka okugenda, laba, nditta mutabani wo omubereberye.’”

24Awo bwe baali bagenda nga batuuse ku nnyumba yʼabagenyi, Mukama nʼamulabikira, nʼayagala okumutta.

25Naye Zipola nʼaddira ejjinja eryogi, nʼakomola omwana we, ekikuta nʼakisuula ku bigere bya Musa, nʼamugamba nti, “Oli baze wa musaayi!”

26Awo Katonda nʼamuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ngʼosaabye omusaayi!”

27Awo Mukama nʼagamba Alooni nti, “Genda mu ddungu, osisinkane Musa. Nʼagenda, nʼamusanga ku lusozi lwa Katonda, ne bagwaŋŋana mu bifuba.”

28Musa nʼabuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yali amutumye okwogera, nʼobubonero bwonna obwʼebyamagero bwe yamulagira okukola.

29Musa ne Alooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulu abakulembeze bʼabaana ba Isirayiri;

30Alooni nʼabategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era nʼabakolera nʼobubonero,

31ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Katonda yakyalira abaana ba Isirayiri, nʼalaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>