1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
2“Ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼolubereberye kwʼolisimbira Eweema ya Mukama, eweema eyʼOkusisinkanirangamu.
3Essanduuko eyʼEndagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko nʼolyoka ogisiikiriza nʼeggigi.
4Oliyingiza emmeeza, nʼotegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo kyʼettaala era nʼotegekako ettaala zaakwo nʼozikoleeza.
5Era oliteeka ekyoto ekya zaabu ekyʼokwoterezangako obubaane mu maaso gʼEssanduuko eyʼEndagaano, nʼossaawo olutimbe mu mulyango gwʼEweema ya Mukama.
6“Ekyoto ekyʼekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso gʼomulyango ogwa Weema ya Mukama, weema eyʼOkusisinkanirangamu,
7olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu nʼekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi.
8Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, nʼossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.
9“Oliddira amafuta agʼokwawula nʼogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama nʼebigirimu byonna, ebeere ntukuvu.
10Olimansira amafuta ku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa nʼebikozesebwako byonna, nʼoyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
11Era nʼebbensani oligimansirako amafuta, ne kwʼetuula, nʼogyawula, nʼogitukuza.
12“Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nʼobanaaza nʼamazzi,
13nʼoyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu nʼomusiigako amafuta nʼomwawula, alyoke ampeereze nga kabona.
14Olireeta ne batabani be nʼobambaza ekkanzu eyʼobwakabona,
15nʼobasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.”
16Musa bwʼatyo nʼakola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.
17Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogwʼolubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama nʼesimbibwa.
18Musa nʼasimba Eweema ya Mukama; nʼateekateeka ebya wansi mwʼetuula, nʼategeka olukangaga lwayo, nʼasimba empagi zaayo;
19nʼassaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
20Nʼaddira Endagaano, eyʼebipande ebyʼamayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, nʼagiteeka munda mu Ssanduuko eyʼEndagaano, nʼassa emisituliro ku Ssanduuko eyʼEndagaano, nʼassaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira;
21nʼayingiza Essanduuko eyʼEndagaano munda mu Weema ya Mukama, nʼatimbawo eggigi, nʼasiikiriza Essanduuko eyʼEndagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
22Nʼayingiza emmeeza mu Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu, nʼagiteeka ku ludda olwʼObukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru wʼeggigi,
23nʼassaako emigaati ngʼagitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
24Nʼassa ekikondo kyʼettaala mu Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu ku ludda olwʼObukiikaddyo obwʼEweema ya Mukama, okwolekera emmeeza,
25nʼategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
26Nʼayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu mu maaso gʼeggigi,
27nʼayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
28Nʼateeka olutimbe olwʼomu mulyango gwʼEweema ya Mukama mu kifo kyalwo.
29Nʼateeka ekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gwʼEweema ya Mukama, weema eyʼOkusisinkanirangamu, nʼaweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼobuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa.
30Nʼatereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu nʼekyoto, nʼassaamu amazzi agʼokunaaba;
31Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe nʼebigere byabwe.
32Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
33Nʼakola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama nʼekyoto, nʼassaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bwʼatyo Musa omulimu nʼagumaliriza.
34
35Musa nʼatasobola kuyingira mu Weema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa, kubanga ekire kyagibuutikira, nʼekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
36Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula;
37naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako.
38Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ngʼabaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.