Okuva 5:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwʼebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ngʼakugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’”

2Naye Falaawo nʼabaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”

3Ne bamugamba nti, “Katonda wʼAbaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe;[6] aleme kututta ne kawumpuli, oba nʼekitala.”

4Naye kabaka wʼe Misiri nʼabagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.”

5Falaawo nʼayongera nʼagamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”

6Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo nʼalagira abagabi bʼemirimu ne bannampala bʼabantu[7] nti,

7“Mulekeraawo okuwanga abantu essubi eryʼokukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.[8]

8Naye mubalagire babumbenga obungi bwʼamatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’

9Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”

10Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bwʼati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi.

11Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako nʼakatono.’ ”

12Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bwʼessubi lyʼeŋŋaano bakozese obwo mu kifo kyʼessubi.

13Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ngʼessubi likyabaweebwa.”

14Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gwʼamatoffaali ogwa jjo nʼogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”

15Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bwʼoti?

16Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ngʼomusango guli mu bantu bo.”

17Falaawo nʼabaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’

18Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gwʼamatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”

19Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ngʼakacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gwʼamatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.”

20Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde.

21Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo nʼabaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”

22Awo Musa nʼakomawo awali Mukama, nʼayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo yʼensonga kyewava ontuma?

23Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza nʼakatono.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>