Okuva 6:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼaddamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olwʼamaanyi, era olwʼamaanyi alibagoba mu nsi ye.”

2 Katonda nʼagamba Musa nti, “NZE MUKAMA.

3 Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti NZE MUKAMA.

4Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ngʼabagwira abatambuze.

5Kaakano mpulidde okusinda kwʼabaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.

6“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gyʼAbamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula nʼomukono gwange ogwʼamaanyi nga nsalira Abamisiri omusango.

7Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu byʼAbamisiri.

8Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa nʼefuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”

9Musa nʼategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga nʼokutuntuzibwa kubayitiridde.

10Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

11“Genda otegeeze Falaawo kabaka wʼe Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”

12Naye Musa nʼaddamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?”

13Naye Mukama nʼayogera ne Musa ne Alooni, nʼabalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi yʼe Misiri.

14Gano ge mannya aga bajjajjaabwe abʼomu bika byabwe: Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi,

15Batabani ba Simyoni: Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana wʼomukyala Omukanani).

16Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ngʼemirembe bwe giri: Gerusoni ne Kokasi ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

17Batabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe: Libuni ne Simeeyi.

18Bano be batabani ba Kokasi: Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.

19Bano be batabani ba Merali: Makuli ne Musi. Abo be bʼomu bika bya Leevi ngʼemirembe gyabwe bwe gyali.

20Amulaamu nʼawasa senga we Yokebedi; nʼamuzaalira: Alooni ne Musa. Amulaamu nʼawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

21Bano be baana ba Izukali: Koola ne Nefega ne Zikiri.

22Abaana ba Wuziyeeri be bano: Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.

23Alooni nʼawasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.

24Bano be baana ba Koola: Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu. Abo be bʼomu kika kya Abakoola.

25Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, nʼamuzaalira Finekaasi. Ago ge mannya gʼabakulu bʼebika byʼAbaleevi, nʼennyumba zaabwe mu bika ebyo.

26Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi yʼe Misiri.”

27Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka wʼe Misiri, ku byʼokuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.

28Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi yʼe Misiri,

29Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka wʼe Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.”

30Naye Musa nʼaddamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>