1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni yʼajja okubeera nnabbi wo.
2Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.
3
4tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri nʼamaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna.
5Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri nʼamaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”
6Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira.
7We baayogerera ne Falaawo, Musa yali aweza emyaka kinaana egyʼobukulu, ne Alooni ngʼaweza emyaka kinaana mu esatu.
8Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti,
9“Falaawo bwʼanaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”
10Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni nʼasuula omuggo gwe wansi awali Falaawo nʼabaweereza be, ne gufuuka omusota.
11Falaawo naye nʼatumya basajja be abagezigezi, nʼabalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe agʼekyama.
12Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.
13Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.
14Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda.
15Mu makya genda eri Falaawo ngʼafuluma okulaga ku mazzi,
16Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gyʼoli ngʼagamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, nʼokutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’
17
18nʼebyennyanja ebiri mu mugga birifa, nʼomugga guliwunya; era nʼAbamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”
19Mukama nʼagamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, nʼemikutu gyabwe, nʼobuyanja bwabwe, nʼebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna eyʼe Misiri: mu ntiba ezʼemiti ne mu matogero agʼamayinja.’ ”
20Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni nʼaddira omuggo gwe nʼakuba ku mazzi agʼomu mugga, nga Falaawo nʼabaweereza be balaba; amazzi gonna agʼomu mugga ne gafuuka omusaayi.
21Era nʼebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi yʼe Misiri.
22Abalogo abʼomu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe agʼekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni nʼatabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye;
23nʼakyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo.
24Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi nʼomugga nga banoonya amazzi agʼokunywa, kubanga amazzi gʼomu mugga nga tegakyanyweka.
25Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.