1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bwʼati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze.
2Naye bwʼonoogaana nʼotabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna.
3Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mwʼosula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba zʼabaweereza bo ne mu zʼabantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa.
4Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ”
5Mukama nʼagamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, nʼeri emikutu gyʼamazzi, nʼeri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna eyʼe Misiri.’ ”
6Bwʼatyo Alooni nʼagolola omukono gwe ku mazzi gonna agʼomu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna eyʼe Misiri.
7Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe agʼekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi eyʼe Misiri.
8Awo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni nʼabagamba nti, “Mwegayirire Mukama anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Mukama.”
9Musa nʼaddamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bwʼosiima, wʼoyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lwʼabaweereza bo, ne ku lwʼabantu bo, ebikere ebikuliko nʼebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”
10Falaawo nʼagamba nti, “Enkya.” Musa nʼagamba nti, “Kijja kubeera nga bwʼogambye, olyoke otegeere nga bwe watali nʼomu afaanana nga Mukama Katonda waffe.
11Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire nʼabaweereza bo nʼabantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”
12Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olwʼebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo.
13Mukama nʼakolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro.
14Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo nʼentuumo; ensi nʼejjula ekivundu.
15Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, nʼakakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni nʼalekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.
16Awo Mukama nʼayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bwʼoti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna eyʼe Misiri.’”
17Ne bakola nga Mukama bwʼabagambye; Alooni nʼagolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, nʼakuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi yʼe Misiri nʼefuuka nsekere.
18Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe agʼekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.
19
20Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ngʼaserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bwʼati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze.
21Naye abantu bange bwʼotoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu byʼensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.
22“ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera nʼakatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi.
23Nzija kussaawo enjawulo wakati wʼabantu bange nʼabantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ”
24Mukama nʼakola bwʼatyo. Ebikuukuulu byʼensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba gʼabaweereza be, ne mu nsi yonna eyʼe Misiri: ensi nʼeyonooneka olwʼebikuukuulu byʼensowera.
25Awo Falaawo nʼatumira Musa ne Alooni, nʼabagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.”
26Naye Musa nʼaddamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja?
27Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bwʼanaatulagira.”
28Falaawo nʼagamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.”
29Musa nʼaddamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano wʼoli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo nʼabakungu be awamu nʼabantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, nʼatakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
30Musa nʼavaayo ewa Falaawo, nʼasaba Mukama.
31Mukama nʼakola nga Musa bwe yamusaba, nʼaggyawo ebikuukuulu byʼensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera nʼemu.
32Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu nʼatabakkiriza kugenda.