Okuva 9:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze.

2Singa ogaana okubakkiriza okugenda, nʼoyongera okubakuumira wano,

3Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume zʼente ne mu ndiga.

4Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri nʼaga Misiri, waleme kubaawo nsolo nʼemu efa mu magana agʼabaana ba Isirayiri.’ ”

5Mukama nʼalonda ekiseera, nʼagamba nti, “Enkya Mukama wʼanaakolera ekintu kino mu nsi eno.”

6Era enkeera Mukama nʼakola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo nʼemu ku magana agʼabaana ba Isirayiri eyafa.

7Falaawo nʼatuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo nʼemu eyʼabaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri nʼatabakkiriza kugenda.

8Awo Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu zʼomunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba.

9Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna eyʼe Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna eyʼe Misiri.”

10 Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa nʼamansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo.

11Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olwʼamayute;[10] kubanga amayute gaakwata abalogo nʼAbamisiri bonna.

12Naye Mukama nʼakakanyaza omutima gwa Falaawo, nʼatawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.

13Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, nʼogenda oyolekera Falaawo, nʼomugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bwʼati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze.

14Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna.

15Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe nʼabantu bo, ne lubamalawo ku nsi.

16 Naye olwʼensonga eno kyennava nkuleka nʼobeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era nʼerinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna.

17Kyokka okyekulumbaliza ku bantu bange nʼotobakkiriza kugenda,

18noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga owʼomuzira ogwʼamayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo.

19Kale, lagira bayingize amagana go agʼente, nʼebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”

20Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe nʼamagana gaabwe.

21Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe nʼamagana gaabwe ebweru.

22Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna eyʼe Misiri: gukube abantu, nʼensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.”

23Musa nʼayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama nʼasindika okubwatuka nʼomuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bwʼatyo Mukama nʼatonnyesa omuzira ku nsi yʼe Misiri.

24Omuzira ne gugwa, nʼokumyansa ne kwetabika nʼomuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga.

25Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna eyʼe Misiri: abantu nʼensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale.

26Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.

27Awo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni, nʼabagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze nʼabantu bange ffe bakyamu.

28Weegayirire Mukama; kubanga omuzira nʼokubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”

29Musa nʼaddamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, nʼomuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ngʼensi eno Mukama ye nannyini yo.

30Kyokka mmanyi nga ggwe nʼabakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”

31(Obugoogwa ne sayiri byakubwa ne bizikirizibwa, kubanga sayiri yali ayengera nga nʼobugoogwa bumulisizza.

32Naye eŋŋaano, yo teyayonoonebwa kubanga yali tennamera.)

33Musa nʼava mu kibuga ewa Falaawo, nʼawanika emikono gye eri Mukama ngʼamusaba; okubwatuka nʼomuzira ne bisirika, era nʼenkuba nʼekya.

34Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, nʼomuzira, nʼokubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye nʼabakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe.

35Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; nʼataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>