Olubereberye 1:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1 Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu nʼensi.

2 Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, nʼOmwoyo wa Katonda ngʼatambulira ku mazzi.

3Awo Katonda nʼagamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.

4Katonda nʼalaba obutangaavu nga bulungi; nʼayawula obutangaavu nʼekizikiza.

5Katonda obutangaavu nʼabuyita emisana, nʼekizikiza nʼakiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwʼolubereberye.

6Era Katonda nʼagamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu nʼamazzi.”

7 Bwʼatyo Katonda nʼakola ebbanga okwawula wansi nʼamazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo.

8Katonda ebbanga nʼaliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.

8

9 Awo Katonda nʼayogera nti, “Amazzi agali wansi wʼeggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.

10Katonda olukalu nʼaluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go nʼagayita ennyanja. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi.

11 Awo Katonda nʼagamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egyʼebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.

12Ensi nʼereeta ebimera: ebimera ebyʼensigo ebya buli ngeri, nʼemiti egyʼebibala ebya buli ngeri nʼebijja ku nsi. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi.

13Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.

14Awo Katonda nʼagamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga lyʼeggulu, okwawula emisana nʼekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, nʼennaku, nʼemyaka.

15Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo.

16 Katonda nʼakola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, nʼekitono kifugenga ekiro, nʼakola nʼemmunyeenye.

17Awo Katonda nʼabiteeka mu bbanga lyʼeggulu byakenga ku nsi,

18enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu nʼekizikiza. Katonda nʼalaba ngʼekyo kirungi.

19Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.

19

20Katonda nʼayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja byʼebiramu, nʼebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.”

21Bwʼatyo Katonda nʼakola ebitonde ebyʼomu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri ekyʼomu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi.

22Bwʼatyo Katonda nʼabiwa omukisa nʼagamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi gʼennyanja, nʼebinyonyi byale ku nsi.”

23Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.

23

24Katonda nʼayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, nʼebyewalula, nʼensolo ezʼomu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali.

25Katonda nʼatonda ensolo ezʼoku nsi eza buli ngeri, nʼente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda nʼalaba nga kyʼakoze kirungi.

25

26Awo Katonda nʼagamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja ebyʼomu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga, nʼensolo zonna, nʼensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”

27 Bwʼatyo Katonda nʼatonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; nʼabatonda omusajja nʼomukazi.

28 Katonda nʼabawa omukisa, nʼabagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”

29 Awo Katonda nʼagamba nti, “Laba mbawadde buli kimera ekyʼensigo ekiri ku nsi na buli muti ogwʼensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga.

30 Mbawadde na buli nsolo eyʼoku nsi, na buli kinyonyi ekyʼomu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.

31Awo Katonda nʼalaba byonna byʼakoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.