Olubereberye 10:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Bano be bazzukulu ba Nuuwa: Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lwʼamataba.

2Batabani ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.

3Batabani ba Gomeri be bano:

3Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.

4Batabani ba Yivani baali:

4Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu.

5Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lwʼennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ngʼennyumba zaabwe nʼamawanga gaabwe bwe biri.

5

6 Batabani ba Kaamu be bano:

6Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,[2] ne Kanani.

7Batabani ba Kuusi be bano: Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani.

7Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.

8Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu owʼamaanyi ennyo ku nsi.

9Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”

10Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.[3]

11Bwe yava mu nsi eyo nʼagenda mu Bwasuli, nʼazimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne

12Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.

13Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,

14ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.

14

15Kanani ye yazaala

15Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi,

16nʼAbayebusi, nʼAbamoli, nʼAbagirugaasi,

17nʼAbakiivi, nʼAbaluki, nʼAbasiini,

18nʼAbaluvada, nʼAbazemali, nʼAbakamasi nʼebika ebyʼomu Kanani ne babuna wonna.

19Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali nʼokutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.

20Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

21Seemu kitaawe wʼabo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.

22Abaana ba Seemu be bano: Eramu, ne Asuli,[4] ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

23Batabani ba Alamu:

23Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.

24Alupakusaadi ye kitaawe wa[5] Seera.

24Seera ye kitaawe wa Eberi.

25Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,

25kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.

26Yokutaani ye yali kitaawe wa

26Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera,

27ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula,

28ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba,

29ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.

30Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu ekyʼensozi ku luuyi olwʼebuvanjuba.

31Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

32Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ngʼokuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nʼamawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lwʼamataba.

>