1Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu.
2Abantu bwe baava oluuyi olwʼebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinali ne babeera omwo.
3Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba nʼamatoffaali mu kifo kyʼamayinja, ne kolaasi mu kifo kyʼettosi.
4Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omwala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
5Naye Katonda nakka okulaba ekibuga nʼomunaala, abaana bʼabantu kye baali bazimba.
6Mukama nʼayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa eyʼebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera.
7Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8Bwʼatyo Mukama nʼabasaasaanya ne babuna ensi yonna, nʼekibuga kyabwe ne batakimaliriza.
9Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lwʼensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
10Bano be baava mu Seemu: Seemu bwe yali ngʼaweza emyaka kikumi, nʼazaala
11Seemu nʼamala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. Nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.
12Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano nʼazaala Seera,
13
14Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu nʼazaala Eberi,
15ate Seera nʼaweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ngʼamaze okuzaala Eberi, era omwo nʼazaaliramu abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.
16Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena nʼazaala Peregi.
17Eberi bwe yamala okuzaala Peregi nʼawangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo nʼazaaliramu abaana abalala aboobulenzi nʼaboobuwala.
18Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu nʼazaala Leewo,
19bwe yamala okuzaala Leewo nʼawangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.
20Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri nʼazaala Serugi.
21Nʼawangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.
22Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu nʼazaala Nakoli,
23bwe yamala okuzaala Nakoli nʼawangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.
24Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda nʼazaala Teera.
25Bwe yamala okuzaala Teera nʼawangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo nʼazaaliramu abaana aboobulenzi nʼaboobuwala.
26Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, nʼazaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
27Bano be baava mu Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti.
28Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli eyʼAbakaludaaya mwe yazaalirwa.
29Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika.
30Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31Teera nʼatwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli ekyʼAbakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,
32Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera nʼafiira mu Kalani.