1
2
3
4Bwʼatyo Ibulaamu nʼagenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti nʼagenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano.
5Ibulaamu nʼatwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, nʼabantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani, bwe batuuka mu nsi ya Kanani,
6Ibulaamu nʼayita mu nsi nʼatuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo.
7
8Bwʼatyo nʼalaga ku lusozi ku luuyi olwʼebuvanjuba obwa Beseri, nʼasimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olwʼebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olwʼebuvanjuba, nʼazimbira eyo Mukama ekyoto, nʼakoowoola erinnya lya Mukama.
9Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ngʼayolekera Negevu
10Ne wagwa enjala mu nsi. Bwʼatyo Ibulaamu nʼaserengeta e Misiri
11Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, nʼagamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ngʼoli mukazi mulungi era mubalagavu,
12era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka.
13Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, nʼobulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”
14Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo.
15Nʼabakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo.
16Ku lwa Salaayi, Falaawo nʼayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu nʼaweebwa endiga, nʼente, nʼendogoyi, nʼabaweereza abasajja, nʼabaweereza abakazi, nʼendogoyi enkazi, nʼeŋŋamira.
17Naye Katonda nʼaleetera Falaawo nʼennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu.
18Awo Falaawo nʼayita Ibulaamu nʼamugamba nti, “Kiki kino kyʼonkoze? Lwaki tewantegeeza nti Mukazi wo?
19Lwaki wagamba nti Mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.”
20Falaawo nʼalagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza nʼava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.