1Bwʼatyo Ibulaamu nʼayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.
2Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo.
3Nʼatambula okuva e Negevu nʼatuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi,
4mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu nʼakoowoolera eyo erinnya lya Mukama.
5Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo byʼendiga nʼamagana gʼente nʼabʼenju ye nga bangi,
6ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo,
7ate nga nʼabasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani nʼAbaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.
8Awo Ibulaamu nʼagamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati wʼabalunzi bo nʼabange, kubanga tuli baaluganda.
9Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze nʼalaga ku luuyi olwa ddyo, bwʼonoolaga ku luuyi olwa ddyo nze nʼalaga ku luuyi olwa kkono.”
10Lutti nʼayimusa amaaso ge, nʼalaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ngʼennimiro ya Mukama; nga kiri ngʼensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola.
11Bwʼatyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani nʼagenda ku luuyi olwʼebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana.
12Ibulaamu nʼabeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti nʼabeera mu bibuga ebyʼomu lusenyi nʼatwala eweema ye nʼagisimba okumpi ne Sodomu.
13Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.
14Mukama nʼagamba Ibulaamu ngʼamaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ngʼosinziira mu kifo mwʼoli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, nʼebuvanjuba nʼebugwanjuba;
15kubanga ensi gyʼolaba ndigikuwa ggwe nʼezzadde lyo emirembe gyonna.
16Ndyaza ezzadde lyo ngʼenfuufu eyʼoku nsi; omuntu bwʼalisobola okubala enfuufu eyʼoku nsi, nʼezzadde lyo aliribala.
17Situka, tambula obuwanvu nʼobukiika obwʼensi kubanga ngikuwadde.”
18Awo Ibulaamu nʼasimbula eweema ye nʼagenda nʼabeera okumpi nʼemivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, nʼazimbira eyo Mukama ekyoto.