1Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinali,
2bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali.
3Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (yʼEnnyanja eyʼOmunnyo).
4Baamala emyaka kkumi nʼebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogwʼekkumi nʼesatu ne bamujeemera.
5Mu mwaka ogwʼekkumi nʼena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa
6nʼAbakooli mu nsi eyʼensozi eya Seyiri nʼokutuukira ddala Erupalaani okumpi nʼeddungu.
7Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna eyʼAbamaleki nʼAbamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.
8Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu kyʼe Sidimu
9okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano.
10Ekiwonvu kyʼe Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka bʼe Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ngʼabamu babigwamu, nʼabalala ne baddukira ku nsozi.
11Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, nʼemmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda.
12Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, nʼebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.
13Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko nʼajja nʼategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi nʼemivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu.
14Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, nʼakulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani.
15Mu kiro nʼayawulamu eggye lye, nʼabalumba, ye nʼabaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olwʼobukiikakkono obwa Damasiko.
16Awo nʼakomyawo ebintu byonna, era nʼakomyawo ne muganda we Lutti nʼebintu bye nʼabakazi nʼabantu bonna.
17Ibulaamu bwe yakomawo ngʼamaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu nʼafuluma okumusisinkana mu kiwonvu kyʼe Save (kye kiwonvu kya kabaka).
18
19Nʼasabira Ibulaamu omukisa ngʼagamba nti,
20
21Ne kabaka wa Sodomu nʼagamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”
22Naye Ibulaamu nʼaddamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi wʼeggulu nʼensi,
23sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’
24Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, nʼomugabo gwʼabasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”