1Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
2Naye Ibulaamu nʼaddamu nti, “Kiki kyʼolimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, nʼomusika wʼennyumba yange ye Eryeza owʼomu Ddamasiko?”
3Ibulaamu ne yeeyongera nʼagamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
4Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, yʼaliba omusika wo.”
5
6
7Nʼamugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi eyʼAbakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.”
8Ibulaamu nʼaddamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?”
9Mukama nʼamuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi eyʼemyaka esatu, endiga ensajja eyʼemyaka esatu, kaamukuukulu nʼejjiba.”
10Ibulaamu nʼabireeta byonna nʼabisalamu wakati nʼateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri.
11Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu nʼazigoba.
12
13
14
15Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ngʼowangaalidde ddala nnyo.
16Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bwʼOmwamoli tebunnayitirira.”
17Enjuba bwe yagwa ngʼekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka nʼekimulisa ne biyita wakati wʼebitundu bino.
18
19Omukeeni, nʼOmukenizi, nʼOmukadumoni,
20nʼOmukiiti, nʼOmuperizi, nʼAbaleefa,
21nʼOmwamoli, nʼOmukanani, nʼOmugirugaasi nʼOmuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”