Olubereberye 16:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana;

2Salaayi nʼagamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake nʼomuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.”

2Awo Ibulaamu nʼawulira eddoboozi lya Salaayi.[13]

3Bwʼatyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we nʼaddira Agali Omumisiri, omuweereza we nʼamuwa Ibulaamu abeere mukazi we.

4Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali nʼaba olubuto.

4Agali bwe yalaba ngʼali lubuto, nʼanyooma Salaayi, mugole we.

5Salaayi nʼagamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bwʼalabye ngʼali lubuto nʼannyooma. Mukama atulamule nze naawe!”

6Naye Ibulaamu nʼagamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bwʼoyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali nʼadduka okuva wʼali.

7Malayika wa Mukama nʼamusanga ku nsulo yʼamazzi mu ddungu, ensulo yʼamazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli.

8Nʼagamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” Nʼamuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”

9Malayika wa Mukama nʼamugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.”

10Era Malayika wa Mukama nʼamugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”

11Ate malayika wa Mukama nʼamugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.

12Aliba ngʼentulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.”

13Awo nʼakoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, nʼagamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”

14Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.

15 Awo Agali nʼazaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu nʼatuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri.

16Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.

>