Olubereberye 17:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.

2Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.”

3Awo Ibulaamu nʼavuunama; Mukama nʼamugamba nti,

4“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe wʼamawanga mangi.

5 Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe wʼamawanga mangi.

6Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe.

7 Era ndituukiriza endagaano yange naawe, nʼezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda wʼezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe nʼemirembe.

8 Era ndikuwa ggwe nʼezzadde lyo eririddawo ensi mwʼobadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”

9Awo Katonda nʼagamba Ibulayimu nti, “Ggwe kyʼolina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe nʼezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna.

10 Eno yʼendagaano yange naawe nʼezzadde lyo eririddawo, gyʼonookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.

11Munaakomolebwanga ekikuta ekyʼomubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero akʼendagaano yange naawe.

12Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ezʼobukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga,

13oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gwʼoguze nʼensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.

14Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”

15Katonda nʼagamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.

16Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja wʼamawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”

17Awo Ibulayimu nʼavuunama nʼaseka, nʼagamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala owʼemyaka ekyenda alizaala omwana?”

18Ibulayimu nʼagamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”

19Katonda nʼamugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.

20Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja wʼabalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eryʼamaanyi.

21Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gwʼalikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”

22Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu nʼava we yali.

23Awo Ibulayimu nʼatwala Isimayiri mutabani we nʼabaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye nʼabo abaagulibwa nʼensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu nʼakomolwa buli omu ekikuta kyʼomubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba.

24Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta kyʼomubiri gwe.

25Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi nʼesatu bwe yakomolebwa ekikuta kyʼomubiri gwe.

26Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa.

27Nʼabasajja bonna mu nnyumba yʼabo abazaalirwamu nʼabo abaagulibwa nʼensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.

>