1Awo Mukama nʼalabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ngʼatudde mu mulyango gwa weema ye.
2
3nʼagamba nti, “Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo.
4Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi wʼomuti,
5nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.”
6Ibulayimu nʼayanguwa okugenda eri Saala, nʼamugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ezʼobutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”
7Ibulayimu nʼagenda bunnambiro mu kisibo nʼaggyamu ennyana, ento era ennungi nʼagiwa omuddu eyayanguwa okugifumba.
8Awo nʼaddira omuzigo nʼamata nʼennyana eyafumbibwa nʼabiteeka mu maaso gaabwe; nʼayimirira we baali, wansi wʼomuti nga balya.
9Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” Nʼaddamu nti, “Ali mu weema.”
10
11Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga zʼabakazi.
12
13Mukama nʼabuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ngʼagamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’
14
15Naye Saala ne yeegaana ngʼagamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde.
16Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu
17Mukama nʼagamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola?
18Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, eryʼamaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.
19Mmulonze alagire abaana be nʼabantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola ebyʼobutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”
20Awo Mukama nʼagamba nti, “Olwʼokunkaabirira okusukkiridde olwʼebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,
21nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ngʼokunkaabirira olwʼebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.”
22Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu nʼasigala ngʼakyayimiridde mu maaso ga Mukama.
23Awo Ibulayimu nʼamusemberera nʼagamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu nʼababi?
24Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza nʼotokisonyiwa olwʼabatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
25Kireme okuba gyʼoli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu nʼababi, abatuukirivu ne benkana nʼababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi owʼensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
26Mukama nʼagamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”
27Ibulayimu nʼaddamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu nʼevvu!
28Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?”
29Ate Ibulayimu nʼamugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.”
30Ate nʼagamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.”
31Nʼagamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.”
32Ate nʼagamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.”
33Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu nʼagenda, ne Ibulayimu nʼaddayo ewuwe.