1Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba nʼagolokoka okubasisinkana, nʼavuunama,
2nʼagamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba yʼomuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde nʼokusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.”
3Naye nʼabawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gyʼali ne bayingira mu nnyumba ye, nʼabategekera ekijjulo nʼemigaati egitali mizimbulukuse ne balya.
4Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja abʼomu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu nʼabato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba;
5
6Lutti nʼafuluma gye bali, nʼaggalawo oluggi,
7nʼabagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo.
8Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mu bakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.”
9Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati yʼatulagira ekyʼokukola! Nedda, tujja kukukolako nʼokusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye nʼoluggi.
10Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi.
11
12Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino;
13kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olwʼabantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.”
14Awo Lutti nʼafuluma nʼategeeza bakoddomi be abaali abʼokuwasa bawala be ngʼagamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ngʼabalaata eri bakoddomi be. Lutti nʼabʼennyumba ye ne badduka.
15Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ngʼekibuga kibonerezebwa.”
16
17Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”
18Awo Lutti nʼabagamba nti, “Nedda bakama bange;
19Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa.
20Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era nʼobulamu bwange bujja kuwona!”
21Nʼamuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga kyʼoyogeddeko.
22Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya lyʼekibuga kyeryava liba Zowaali.
23Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa.
24
25nʼazikiriza ebibuga ebyo, nʼekiwonvu kyonna nʼabantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu.
26
27Awo ku makya ennyo Ibulayimu nʼagenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama;
28nʼatunula wansi okwolekera Sodomu ne Ggomola nʼokwolekera ekitundu kyonna ekyʼolusenyi, nʼalaba, era laba, ekitundu kyonna nga kijjudde omukka.
29Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga ebyʼomu kiwonvu. Katonda nʼajjukira Ibulayimu nʼafulumya Lutti ebweru nʼamuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga.
30Awo Lutti nʼava mu Zowaali, nʼabeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku.
31Olunaku lumu omuwala omukulu nʼagamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ngʼempisa yʼensi bwʼeri.
32Jjangu tunywese kitaffe omwenge, tulyoke twebake naye, tusobole okufuna ezzadde nga liva mu kitaffe.”
33Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu nʼagenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti nʼatamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka.
34Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu nʼagamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gyʼali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.”
35Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto nʼasituka ne yeebaka naye, Lutti nʼatamanya bwe yeebase ne bwʼagolokose.
36Bwe batyo bawala ba Lutti bombi buli omu nʼaba olubuto nga lwa kitaabwe.
37Omuwala omukulu nʼazaala omwana wabulenzi nʼamutuuma Mowaabu, ye jjajja wʼAbamowaabu abaliwo kaakano.
38Omuto naye nʼazaala omwana mulenzi nʼamutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.