1ⓚ Bwe bityo eggulu nʼensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
2ⓛ Ku lunaku olwʼomusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; nʼawummulira ku lunaku olwo ngʼava ku mirimu gye gyonna gye yakola.
3Bwʼatyo Katonda olunaku olwʼomusanvu nʼaluwa omukisa nʼalutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
4Ebyo byʼebifa ku ggulu nʼensi nga bwe byatondebwa: Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu nʼensi,
5tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu owʼokulima ettaka.
6Naye ensulo nʼeva mu ttaka nʼefukirira ensi yonna.
7ⓜ Mukama Katonda nʼakola omuntu okuva mu nfuufu eyʼoku nsi nʼamufuuwa mu nnyindo omukka ogwʼobulamu. Omuntu nʼaba omulamu.
8Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olwʼebuvanjuba, omuntu gwe yabumba nʼamuteeka omwo.
9ⓝ Mukama Katonda nʼameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. Nʼateeka omuti ogwʼobulamu, nʼomuti ogwʼokumanya ekirungi nʼekibi wakati mu nnimiro.
10ⓞ Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena.
11Erinnya lyʼogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavina, awali zaabu;
12ne zaabu yʼensi eyo nnungi; mulimu bideriamu nʼamayinja sokamu.
13Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.[1]
14Nʼerinnya lyʼogwokusatu ye Tiguli ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
15Mukama Katonda nʼateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga.
16Mukama Katonda nʼalagira omuntu nti, “Emiti gyonna egyʼomu nnimiro olyangako,
17naye omuti ogwʼokumanya ekirungi nʼekibi ogwo togulyangako, kubanga lwʼoligulyako tolirema kufa.”
18Mukama Katonda nʼayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
19Naye olwo Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ezʼomu nsiko nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga. Nʼabireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo.
20Bwʼatyo omuntu nʼatuuma buli nsolo eyʼawaka, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga nʼensolo ezʼomu nsiko amannya.
20Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi.
21ⓟ Mukama Katonda nʼaleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase nʼamuggyamu olubirizi lumu, nʼazzaawo ennyama.
22ⓠ Mukama Katonda nʼatonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja nʼamumuleetera.
23ⓡ Omusajja nʼagamba nti, “Lino lye ggumba eryʼomu magumba gange, ye nnyama eyʼomu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
24ⓢ Noolwekyo omusajja kyʼanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25ⓣ Omusajja nʼomukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.