Olubereberye 20:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Ibulayimu bwe yava eyo nʼatambula okwolekera Negevu, nʼabeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; nʼagenda mu Gerali.

2Ibulayimu nʼayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali nʼatumya nʼatwala Saala.

3Naye Katonda nʼajja eri Abimereki mu kirooto ekiro nʼamugamba nti, “Laba oli mufu, olwʼomukazi gwʼotutte kubanga muka musajja.”

4Naye Abimereki yali tanneebaka naye, nʼalyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango.

5Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala nʼaŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu nʼemikono gyange tegiriiko musango.”

6Awo Katonda nʼayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako.

7Kale kaakano zzaayo mukazi wʼomusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe onʼoba mulamu. Naye bwʼotomuzzeeyo, manya ngʼojja kufa, ggwe ne byʼolina byonna.”

8Awo Abimereki nʼagolokoka mu makya ennyo nʼayita abakungu be bonna nʼabategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo.

9Awo Abimereki nʼayita Ibulayimu nʼamugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, nʼondeetera nze nʼobwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? Byʼonkoze tebisaana kukolebwa muntu.”

10Era Abimereki nʼagamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?”

11Ibulayimu nʼaddamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda nʼakamu, era balinzita olwa mukazi wange.

12Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange.

13Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Ekyʼekisa kyʼoyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti Ndi mwannyoko.’ ”

14Awo Abimereki nʼatwala endiga nʼente, abaweereza abasajja nʼabaweereza abakazi, nʼabiwa Ibulayimu, nʼamuddiza Saala mukyala we.

15Era Abimereki nʼamugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera wʼoyagala.”

16Nʼagamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”

17Awo Ibulayimu nʼasabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda nʼawonya Abimereki era nʼawonya ne mukazi we; nʼabaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana.

18Kubanga Mukama yali aggalidde embuto zʼabʼomu nnyumba yʼAbimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

>