1Awo Mukama nʼakwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu nʼakola Saala nga bwe yasuubiza.
2
3Ibulayimu nʼatuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka.
4
5Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.
6Saala nʼagamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.”
7Era nʼagamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”
8Isaaka nʼakula, nʼaggyibwa ku mabeere, Ibulayimu nʼafumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.
9Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ngʼazannya ne mutabani we Isaaka.
10
11Naye ekyo Ibulayimu nʼatakisiima.
12
13Era nʼomwana wʼomuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.”
14Ibulayimu nʼagolokoka ku makya ennyo, nʼaddira omugaati nʼensawo eyʼamazzi nʼabiwa Agali nʼomwana gwe yazaala ngʼabiteeka ku kibegabega kye, nʼamusiibula. Agali nʼagenda ngʼatambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.
15Awo amazzi agʼomu ddiba bwe gaggwaamu, Agali nʼateeka omwana we wansi wʼogumu ku miti.
16Agali ne yeeyongerayo ebbanga ngʼawalasibwa akasaale, nga mita kikumi, nʼatuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ngʼafa.” Naye bwe yali ngʼatudde, omwana nʼayimusa eddoboozi nʼakaaba.
17Katonda nʼawulira eddoboozi lyʼomulenzi ngʼakaaba, malayika wa Katonda nʼayita Agali ngʼasinziira mu ggulu nʼamugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi lyʼomulenzi wʼali.
18Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”
19Awo Katonda nʼazibula amaaso gʼAgali, nʼalaba oluzzi, nʼagenda nʼajjuza ensawo eyʼeddiba amazzi, nʼanywesa omulenzi.
20Awo Katonda nʼaba nʼomulenzi nʼakula nʼabeera mu ddungu nʼaba mwatiikirivu mu kulasa.
21Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina nʼamufunira omukazi okuva mu nsi yʼEmisiri.
22Mu kiseera ekyo Abimereki ngʼali ne Fikoli omukulu wʼeggye lye nʼagamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli kyʼokola:
23kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana wʼomwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bwʼolinkola nze nʼensi mwʼozze.”
24Ne Ibulayimu nʼamuddamu nti, “Nkulayiridde.”
25Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olwʼoluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako.
26Abimereki nʼamugamba nti, “Simanyi nʼomu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lwʼokintegeezeezza olwa leero.”
27Awo Ibulayimu nʼaddira endiga nʼente nʼabiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.
28Awo Ibulayimu nʼayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye.
29Abimereki nʼabuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi zʼoyawuddeko amakulu gaazo ki?”
30Nʼamuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti Nze nasima oluzzi olwo.”
31Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira.
32Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu wʼeggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi yʼAbafirisuuti.
33Ibulayimu nʼasimba omuti omumyulira mu Beeruseba nʼakaabiririra eyo erinnya lya Mukama, Katonda Ataggwaawo.
34Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi yʼAbafirisuuti okumala ennaku nnyingi.