1Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu.
2Nʼafiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu nʼayingira okumukungubagira nʼamukaabira.
3Oluvannyuma nʼava awali omulambo gwe nʼagenda eri Abakiiti
4
5Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti,
6“Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gyʼoneeroboza. Tewali nʼomu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”
7Ibulayimu nʼagolokoka nʼavuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi.
8Nʼabagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali,
9anguze empuku eyʼe Makupeera, gyʼalina, eri ku nkomerero yʼennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange ekyʼokuziikangamu mu mmwe.”
10Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti nʼaddamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gwʼekibuga nga bawulira nti,
11“Nedda Mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro nʼempuku erimu, ngʼabantu bange balaba, ziika omuntu wo.”
12Awo Ibulayimu nʼavuunama mu maaso gaabwe bonna.
13Nʼagamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gwʼennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.”
14Efulooni nʼaddamu Ibulayimu nti,
15“Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu byʼeffeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri abʼomukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
16Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.
17Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olwʼebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu nʼempuku eyalimu, nʼemiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya
18Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gwʼekibuga balaba.
19Oluvannyuma Ibulayimu nʼaziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olwʼebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani.
20Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu nʼempuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.