1Ibulayimu yawangaala nʼakaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna.
2Awo Ibulayimu nʼagamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi wʼekisambi kyange
3ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda wʼeggulu era Katonda wʼensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera,
4wabula ngʼoligenda mu nsi yange mu bantu bange nʼowasiza mutabani wange Isaaka omukazi.”
5Omuddu kwe kumubuuza nti, “Omukazi bwʼataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?”
6Ibulayimu nʼaddamu nti, “Togezanga nʼozzaayo mutabani wange.
7Mukama, Katonda wʼeggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era nʼandayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we nʼakukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo.
8Naye omukazi bwʼaligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga nʼozzaayo omwana wange.”
9Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi wʼekisambi kya mukama we Ibulayimu.
10Awo omuddu nʼatwala ku ŋŋamira za mukama we nʼagenda ngʼatutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. Nʼayimuka nʼagenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli.
11Obudde bwe bwawungeera nʼatuuka ebweru wʼekibuga nʼafukamiza awo eŋŋamira okumpi nʼoluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.
12Nʼasaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo.
13Laba nnyimiridde okumpi nʼoluzzi, ne bawala bʼabantu abʼomu kibuga bajja okusena amazzi.
14Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi agʼomu nsuwa yo nnyweko,’ nʼamala agamba nti, ‘Kale nnywa, era nʼeŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo yʼaba abeera gwʼolonze okuba mukazi wʼomuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”
15Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, nʼajja ngʼatadde ensuwa ye eyʼamazzi ku kibegabega kye.
16Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, nʼakka mu luzzi nʼajjuza ensuwa ye nʼavaayo.
17Awo omuddu nʼayanguwa nʼamusisinkana, nʼamugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”
18Nʼamuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago nʼassa ensuwa mu mikono gye, nʼagikwata mu mukono gwe nʼamuwa amazzi.
19Bwe yamala okumuwa amazzi, nʼamugamba nti, “Nʼeŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.”
20Bwʼatyo nʼayanguwa nʼayiwa ensuwa ye eyʼamazzi nʼagimalira mu kyesero, nʼadduka nʼasena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna,
21omusajja ngʼasirise ngʼamwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.
22Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja nʼaddira empeta ya zaabu eyʼoku matu erimu gulaamu ttaano nʼobutundu musanvu nʼebikomo ebya zaabu bibiri ebyʼoku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano nʼabiwa omuwala abyenaanike.
23Nʼamubuuza nti, “Oli muwala wʼani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?”
24Nʼamuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.”
25Nʼayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu nʼemmere endala ebimala, era nʼekisenge ekyʼokusulamu tukirina.”
26Awo omusajja nʼakutamya omutwe gwe nʼasinza Mukama.
27Nʼagamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo nʼobwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo nʼantuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.”
28Awo omuwala nʼadduka nʼategeeza abʼennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna.
29Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja,
30Labbaani bwe yalaba empeta nʼebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ngʼomusajja bwʼamugambye, nʼagenda eri omusajja. Laba omusajja yali ngʼayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi.
31Labbaani nʼamugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era nʼekifo kyʼeŋŋamira.”
32Awo, omusajja nʼalaga ku nnyumba, nʼasumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi nʼebyokulya ne bamuleetera nʼamazzi ye nʼabasajja be yali nabo banaabe ebigere.
33Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye nʼagamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.” Labbaani nʼamugamba nti, “Yogera.”
34Awo nʼagamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu.
35Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo byʼendiga nʼamagana gʼente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja nʼabaweereza abakazi era nʼeŋŋamira awamu nʼendogoyi.
36Era Saala muka mukama wange bwe yali ngʼakaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna byʼalina.
37Mukama wange yandayiza nʼaŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera.
38Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, nʼowasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’
39Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bwʼatalikkiriza kujja nange?’
40“Ye nʼanziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, nʼowasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange.
41Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bwʼolituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’
42“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko,
43laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,”
44nʼanziramu nti, “Nnywa, era ne ŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo yʼaba abeera omukazi Mukama gwʼalondedde mutabani wa mukama wange.’
45“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka nʼavaayo nʼensuwa ye ngʼeri ku kibegabega kye, nʼaserengeta ku luzzi nʼasena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’
46“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, nʼagamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa nʼeŋŋamira zo.’
47“Kwe kumubuuza nti, ‘Oli muwala wʼani?’ Nʼanziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye nʼebikomo ku mikono gye.
48Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange.
49Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye ekyʼokukola.”
50Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri.
51Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bwʼalagidde.”
52Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe nʼavuunama wansi mu maaso ga Mukama.
53Nʼaggyayo ebyʼobugagga ebya ffeeza ne zaabu, nʼebyambalo nʼabiwa Lebbeeka, era nʼawa mwannyina ne nnyina ebirabo ebyʼomuwendo omungi.
54Awo ye nʼabasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.
55Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”
56Ye nʼabaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Katonda awadde olugendo lwange omukisa.”
57Ne bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.”
58Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda nʼomusajja ono?” Nʼaddamu nti, “Nnaagenda.”
59Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, nʼomuweereza we omuwala, nʼomuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu nʼabasajja be.
60Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,
61Awo Lebbeeka nʼabaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda nʼomuweereza wa Ibulayimu omusajja, bwʼatyo omuddu nʼatwala Lebbeeka ne bagenda.
62Olwo Isaaka yali ngʼavudde e Beerirakayiroyi ngʼali mu Negevu.
63Awo bwe yali ngʼatambula nga bwʼafumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, nʼayimusa amaaso ge nʼalengera eŋŋamira nga zijja.
64Ne Lebbeeka nʼayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka nʼava ku ŋŋamira,
65nʼabuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”
66Awo omuddu nʼategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda.
67Awo Isaaka nʼatwala Lebbeeka nʼamuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, nʼafuuka mukazi we nʼamwagala. Isaaka nʼalyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.