1Ibulayimu nʼawasa omukazi omulala erinnya lye Ketula.
2Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
3Yokusaani nʼazaala Seeba ne Dedani. Dedani nʼazaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu.
4Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana nʼabazzukulu ba Ketula.
5Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina.
6Naye bo abaana bʼabaweereza be nʼabawa birabo, nʼabasiibula bwe yali ngʼakyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi eyʼebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.
7Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano.
8Ibulayimu yafa ngʼakaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi.
9Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku eyʼe Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule;
10ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we.
11Ibulayimu bwe yafa, Katonda nʼawa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka nʼabeera e Beerirakayiroyi.
12Bano be baana ba Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.
13Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
14ne Misuma, ne Duma, ne Masa,
15ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema.
16Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu nʼeggwanga lye.
17Isimayiri yafa ngʼawezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu nʼatwalibwa mu babe.
18Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.
19Bano be baana ba Isaaka, mutabani wa Ibulayimu.
20Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli owʼe Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
21Isaaka nʼasaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Katonda nʼawulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto.
22Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka nʼagamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo nʼagenda ne yeebuuza ku Mukama.
23
24Ennaku ezʼokuzaala bwe zaatuuka, laba, nʼazaala abalongo nga babulenzi.
25Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ngʼekyambalo ekyʼebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu.
26Oluvannyuma ne muganda we nʼazaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
27Abalenzi ne bakula, Esawu nʼaba muyizzi lukulwe, omuntu owʼoku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ngʼasigala waka.
28Isaaka nʼayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye nʼayagala Yakobo.
29Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu nʼajja ngʼava ku ttale; enjala ngʼemuluma nnyo.
30Esawu nʼagamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.
31Yakobo nʼamuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”
32Esawu nʼagamba nti, “Laba ndi kumpi nʼokufa, obukulu bungasa ki?”
33
34Yakobo nʼalyoka awa Esawu emmere nʼenva, nʼalya nʼanywa, nʼagolokoka nʼagenda.