Olubereberye 26:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka nʼagenda mu Gerali, ewa Abimereki[19] kabaka wʼAbafirisuuti.

2Ne Mukama nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga.

3Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, nʼakuwanga omukisa kubanga gwe nʼabaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu.

4Ndyaza abaana bʼenda yo ne baba ngʼemmunyeenye ezʼeggulu, era ndibawa nʼensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna agʼoku nsi mwe galiweerwa omukisa;

5kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, nʼakwata bye namukuutira, nʼebiragiro byange, nʼebigambo byange awamu nʼamateeka gange.”

6Bwʼatyo Isaaka nʼabeera mu Gerali,

7abasajja abʼomu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we nʼabaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ngʼalowooza nti, “Abasajja abʼomu nsi omwo tebalwa ku nzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo.

8Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka wʼAbafirisuuti nʼatunula mu ddirisa, nʼalaba Isaaka ngʼazannya ne Lebbeeka mukazi we.

9Abimereki kwe kuyita Isaaka nʼamugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?” Isaaka nʼamuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”

10Abimereki nʼamugamba nti, “Kale kiki kino kyʼotukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”

11Awo Abimereki nʼalyoka alagira abantu bonna ngʼagamba nti, “Buli alikwata ku musajja ono oba ku mukyala we waakuttibwa.”

12Isaaka nʼasigala mu nsi omwo, nʼafuna amakungula emirundi kikumi agʼebyo bye yasiga.

13Nʼafuuka mugagga, obugagga bwe ne bweyongera nʼagaggawala nnyo.

14Yalina ebisibo byʼendiga bingi nnyo nʼamagana gʼente, era nʼabaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya.

15Kyebaava bajjuza enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasima mu biro bya kitaawe Ibulayimu, ne baziziba.

16Ne Abimereki nʼagamba Isaaka nti, “Ggenda, tuveemu kubanga otuyitiridde amaanyi.”

17Awo Isaaka nʼavaayo nʼazimba mu kiwonvu ekyʼe Gerali, nʼabeera omwo.

18Isaaka nʼazibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu biseera bya Ibulayimu kitaawe, kubanga Abafirisuuti baziziba Ibulayimu bwe yamala okufa. Era ye Isaaka nʼaziyita amannya gali kitaawe ge yali azituumye.

19Naye abaddu ba Isaaka bwe basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olwʼensulo,

20abasumba bʼomu Gerali ne bayomba nʼabasumba ba Isaaka nga bagamba nti, “Amazzi gaffe”. Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki[20], kubanga baawakana naye.

21Kyebaava basima oluzzi olulala, era nalwo ne baluyombera, lwo kwe kuluyita Situna.

22Awo nʼavaayo nʼasima oluzzi olulala, olwo lwo ne bataluyombera, kyeyava alutuuma Lekobosi, ngʼagamba nti, “Kubanga kaakano Mukama atuwadde ebbanga, era tujja kukulaakulanira muno.”

23Bwe yava eyo nʼagenda e Beeruseba,

24Ekiro ekyo Mukama nʼalabikira Isaaka, nʼamugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”

25Awo nʼazimbawo ekyoto nʼakoowoola erinnya lya Mukama, nʼasimba eyo eweema ye. Era nʼeyo abaddu be ne basimayo oluzzi.

26Mu kiseera kye kimu Abimereki nʼava mu Gerali ngʼali ne Akuzasa gwe yeebuuzangako amagezi ne Fikoli omukulu wʼeggye lye, nʼagenda eri Isaaka.

27Isaaka nʼababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ngʼate mwankijjanya ne mungobaganya?”

28Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Katonda ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe,

29nga tolitukola kabi, nga ffe bwe tutaakakukola era nga tetuliiko kye tukukoze, wabula ebirungi era nga twakusiibula mirembe.’ Kaakano gwe oli muntu Mukama gwʼawadde omukisa.”

30Awo Isaaka nʼabakolera ekijjulo ne balya ne banywa.

31Ku makya ennyo ne bagolokoka ne balayiriragana, Isaaka nʼabawerekerako ne bava gyʼali mirembe.

32Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza ebyʼoluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.”

33Nʼalutuuma Siba; erinnya lyʼekibuga kyeriva liba Beeruseba na buli kati.

34Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana egyʼobukulu, nʼawasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti, ne Besimansi muwala wa Eromi naye Omukiiti.

35Ne bakaluubiriza nnyo Isaaka ne Lebbeeka obulamu.

>