1Awo Isaaka bwe yali ngʼakaddiye nnyo nʼamaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, nʼayita Esawu mutabani we omukulu, nʼamugamba nti, “Mutabani,” nʼamuddamu nti, “Nze nzuuno.”
2Isaaka nʼamugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa.
3Kale kaakano kwata byʼoyizza, omutego gwo nʼobusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo.
4Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”
5Ne Lebbeeka yali awo ngʼawuliriza, Isaaka ngʼagamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete,
6Lebbeeka nʼagamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ngʼagamba muganda wo Esawu nti,
7‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’
8Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba.
9Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bwʼayagala,
10okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”
11Naye Yakobo nʼagamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu.
12Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gyʼali, ne nfuna ekikolimo mu kifo kyʼokufuna omukisa?”
13Nnyina nʼamuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”
14Awo Yakobo nʼagenda, nʼazikwata nʼazireeteera nnyina, nʼateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala.
15Lebbeeka nʼaddira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; nʼabyambaza Yakobo mutabani we omuto,
16era nʼaddira nʼamaliba gʼembuzi nʼagamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera.
17Nʼalyoka addira ekyokulya ekiwooma nʼomugaati bye yafumba, nʼabikwasa Yakobo mutabani we.
18Awo Yakobo nʼagenda eri kitaawe, nʼamugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye nʼamuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?”
19Yakobo nʼagamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bwʼoŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.”
20Naye Isaaka nʼabuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bwʼotyo?” Nʼamuddamu nti, “Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”
21Awo Isaaka nʼagamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.”
22Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira nʼagamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.”
23Nʼatamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ngʼegya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa.
24Isaaka nʼamubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?”
25Nʼalyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” Nʼalyoka agumuleetera, nʼalya era nʼamuleetera ne wayini nʼanywa.
26Awo kitaawe Isaaka nʼamugamba nti, “Sembera onnywegere mwana wange.”
27Nʼamusemberera nʼamunywegera, kitaawe nʼawulira akaloosa ke ngoye ze nʼamuwa omukisa ngʼagamba nti,
28
29
30Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu nʼatuuka ngʼava okuyigga.
31Era naye nʼateekateeka emmere eyʼakawoowo nʼagireetera kitaawe. Nʼagamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gwʼomwana wo olyoke onsabire omukisa.”
32Kitaawe Isaaka nʼamubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”
33Olwo Isaaka nʼakankana nnyo nʼabuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo nʼagundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”
34Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, nʼatulika nʼakaaba nnyo nnyini, nʼagamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.”
35Naye nʼamuddamu nti, “Muganda wo azze nʼannimba era akututteko omukisa gwo.”
36Esawu nʼayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako ebyʼobukulu bwange, ate kaakano antutteko nʼomukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa nʼakatono?”
37Isaaka nʼaddamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe nʼemmere eyʼempeke wamu ne wayini nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”
38
39
40
41Awo Esawu nʼakyawa muganda we Yakobo ngʼamulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu nʼalyoka ayogera nti, “Ennaku ezʼokukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.”
42Kyokka Lebbeeka nʼatuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, nʼamugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta.
43Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani,
44obeereko eyo, okutuusa obusungu bwa muganda wo nga bukkakkanye.
45Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde kyʼomukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?”
46Lebbeeka nʼalyoka ategeeza Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa olwʼabakazi bano Abakiiti. Singa Yakobo awasa omu ku bakazi Abakiiti, nga bano, omu ku bakazi aba muno, obulamu bwange buliba tebukyangasa.”