Olubereberye 28:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Isaaka nʼayita Yakobo nʼamuwa omukisa, nʼamukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani.

2Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko.

3Katonda Ayinzabyonna akuwe omukisa, akwaze, weeyongere, era obeerenga nʼabantu abʼenjawulo bangi.

4Akuwe emikisa gya Ibulayimu, era agiwe nʼezzadde lyo, olyoke ofune ensi mwʼotambulira, Katonda gye yawa Ibulayimu.”

5Bwʼatyo Isaaka nʼasiibula Yakobo, Yakobo nʼagenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo.

6Esawu nʼategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ngʼamusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,”

7era nga Yakobo agondedde kitaawe ne nnyina nʼagenda e Padanalaamu.

8Awo nʼategeera nti abakazi Abakanani tebaasanyusa kitaawe Isaaka.

9Esawu nʼagenda eri Isimayiri nʼawasa omukazi erinnya lye Makalasi, muwala wa Isimayiri, mutabani wa Ibulayimu, mwannyina wa Nebayoosi, nʼamwongera ku bakazi be yalina.

10Awo Yakobo nʼava e Beeruseba nʼayolekera Kalani. Nʼatuuka mu kifo ekimu, nʼasula awo ekiro ekyo, kubanga obudde bwali buzibye.

11Nʼaddira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo, nʼalyezizika ne yeebaka.

12 Nʼaloota ngʼalaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako,

13era nga Mukama atudde waggulu waalyo. Mukama nʼagamba Yakobo nti, “Nze Mukama Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka; ensi kwʼogalamidde ndigikuwa ggwe nʼezzadde lyo.

14Era ezzadde lyo liriba ngʼenfuufu yʼoku nsi, era olibuna obugwanjuba nʼobuvanjuba era nʼobukiikakkono nʼobukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna agʼoku nsi mwe galiweerwa omukisa.

15Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gyʼonoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”

16Awo Yakobo nʼava mu tulo nʼagamba nti, “Mazima ddala Mukama ali mu kifo kino, nze mbadde ssimanyi.”

17Nʼatya nnyo, nʼagamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gwʼeggulu.”

18Awo Yakobo nʼagolokoka ku makya, nʼaddira ejjinja lye yali yeezizise nʼalisimba okuba empagi nʼayiwa amafuta ku mutwe gwa lyo.

19Ekifo ekyo nʼakituuma Beseri, songa ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.

20Awo Yakobo ne yeerayirira ngʼagamba nti, “Katonda bwʼalibeera nange, nʼankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, nʼampa emmere okulya era nʼebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange,

21olwo Mukama nʼaba Katonda wange.

22Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era nʼebyo byonna byʼompa ndikuwaako ekimu ekyʼekkumi.”

>