1Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, nʼatuuka mu nsi yʼabantu bʼebuvanjuba.
2Bwe yatunula nʼalaba oluzzi mu nnimiro, ngʼebisibo bisatu ebyʼendiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gwʼoluzzi olwo lyali ddene,
3era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gwʼoluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.
4Awo Yakobo nʼabuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
5Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
6Nʼabuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja nʼendiga!”
7Nʼabagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”
8Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ngʼebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga nʼejjinja terinaggyibwa ku mumwa gwʼoluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”
9Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri nʼatuuka nʼendiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda.
10Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, nʼendiga za Labbaani, nʼagenda nʼayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gwʼoluzzi nʼanywesa endiga za Labbaani.
11Yakobo nʼalyoka agwa Laakeeri mu kifuba, nʼayimusa eddoboozi nʼakaaba.
12Yakobo nʼalyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka nʼategeeza kitaawe.
13Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, nʼadduka okumusisinkana, nʼamugwa mu kifuba nʼamulamusa bulungi, nʼamutwala mu nnyumba ye. Yakobo nʼategeeza Labbaani byonna ebyaliwo.
14Labbaani nʼagamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! Nʼabeera naye omwezi mulamba.”
15Awo Labbaani nʼagamba Yakobo nti, “Olwʼokubanga oli waluganda kyʼonoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bwʼeneebanga.”
16Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya lyʼomukulu nga ye Leeya ne lyʼomuto nga ye Laakeeri.
17Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga wʼamaanyi.
18Yakobo yayagala Laakeeri, era nʼagamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza
19Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.”
20Bwʼatyo Yakobo nʼakolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ngʼennaku obunaku gyʼali kubanga yamwagala nnyo.
21Awo Yakobo nʼagamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”
22Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu bʼekifo ekyo, nʼakola embaga.
23Naye mu kiro Labbaani nʼatwala muwala we Leeya nʼamuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.
24Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.
25Bwe bwakya, Yakobo nʼalaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?”
26Labbaani nʼamuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa.
27Sooka omale nʼono wiiki eno emu, nʼoli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”
28Ekyo Yakobo nʼakikkiriza, nʼamalako wiiki emu eyo, Labbaani nʼalyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we.
29Labbaani nʼawa Laakeeri Biira amuweerezenga.
30Yakobo nʼatwala Laakeeri nʼaba mukazi we; nʼayagala Laakeeri okusinga Leeya, nʼaweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.
31Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa nʼaggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba.
32Leeya nʼaba olubuto, nʼazaala omwana wabulenzi. Nʼamutuuma erinnya Lewubeeni, ngʼagamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
33Nʼaba olubuto olulala, nʼazaala omwana mulenzi, nʼagamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; nʼamutuuma erinnya Simyoni.”
34Ate nʼaba olubuto nʼazaala omwana mulenzi, nʼagamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
35Era Leeya nʼaba olubuto nʼazaala omwana wabulenzi, nʼagamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; nʼalekayo okuzaala.