1Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ezʼomu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti ‘Temulyanga ku muti gwonna ogwʼomu nnimiro!’”
2Omukazi nʼaddamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogwʼomu nnimiro,
3kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala kyʼomuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ”
4
5
6Awo omukazi bwe yalaba ngʼomuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, nʼanoga ekibala kyagwo nʼalya; nʼawaako ne bba naye nʼalya.
7Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala gʼemiti ne beekolera ebyokwambala.
8
9Naye Mukama Katonda nʼayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”
10Nʼaddamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”
11Nʼamubuuza nti, “Ani akubuulidde nti Oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
12Omusajja nʼaddamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange yʼampadde ekibala ne ndya.”
13
14
15
16
17Nʼagamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, nʼolya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako;
18
19
20Omusajja nʼatuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina wʼabalamu bonna.
21Mukama Katonda nʼakolera Adamu ne mukazi we ebyambalo ebyʼamaliba nʼabambaza.
22Awo Mukama Katonda nʼagamba nti, “Laba omuntu afuuse ngʼomu ku ffe okumanyanga ekirungi nʼekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe nʼanoga ku muti ogwʼobulamu nʼalya, nʼawangaala emirembe gyonna.”
23Bwʼatyo Mukama Katonda nʼagoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa.
24Bwe yamala okugobamu omuntu, nʼateekamu Bakerubi nʼekitala ekimyansa ekyʼobwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogwʼobulamu.