1Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, nʼakwatirwa muganda we obuggya; nʼagamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”
2Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, nʼamugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”
3Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.
4Nʼalyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye.
5Biira nʼaba olubuto nʼazaalira Yakobo omwana owoobulenzi.
6Awo Laakeeri nʼagamba nti, “Katonda ankoze bulungi, nʼawulira eddoboozi lyange, nʼampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani.
7Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri nʼaba olubuto ate, nʼazaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri.
8Laakeeri nʼalyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okwʼamaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.
9Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, nʼaddira omuweereza we Zirupa nʼamuwa Yakobo abe mukazi we.
10Zirupa omuweereza wa Leeya nʼalyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi;
11Leeya nʼagamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.
12Ate Zirupa omuweereza wa Leeya nʼazaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri.
13Leeya nʼagamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.
14Lumu mu biseera ebyʼamakungula gʼeŋŋaano Lewubeeni nʼagenda mu nnimiro, nʼanoga amadudayimu,
15Kyokka ye nʼamuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale nʼamadudayimu gʼomwana wange?” Laakeeri nʼamugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olwʼamadudayimu gʼomwana wo.”
16Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya nʼafuluma okumusisinkana, nʼamugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze nʼamadudayimu gʼomwana wange.” Kwe kwetaba naye.
17Katonda nʼawulira Leeya, nʼaba olubuto, nʼazaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano.
18Leeya nʼagamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.
19Leeya nʼaba olubuto ate, nʼazaalira Yakobo Omwana owoobulenzi owʼomukaaga.
20Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Owʼomukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.
21Oluvannyuma nʼazaala omwana owoobuwala, nʼamutuuma Dina.
22Ate Katonda nʼajjukira Laakeeri, nʼamuwulira nʼaggula olubuto lwe.
23Nʼaba olubuto nʼazaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri nʼagamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;”
24nʼamutuuma Yusufu, ngʼagamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”
25Laakeeri bwe yazaala Yusufu, Yakobo nʼagamba Labbaani nti, “Nsiibula, ŋŋende ewaffe mu nsi yaffe.
26Mpa bakazi bange nʼabaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”
27Labbaani kwe kumuddamu nti, “Nga bwe nfunye omukisa mu ggwe, nkusaba oleme kuva wano, kubanga ndabye nga Mukama yampa omukisa ku bubwo.
28Ntegeeza empeera yo nange ngikuwe.”
29Yakobo nʼamuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti Nkuweerezza era nʼensolo zo nga nzaazizza.
30Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama nʼakuwa omukisa buli gye nʼaddanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?”
31Labbaani kwe kumubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo nʼamuddamu nti, “Tojja kubaako kyʼompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo:
32nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo nʼeza bitanga, nʼendiga ento enzirugavu, nʼembuzi eza bugondogondo nʼezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange.
33Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bwʼolijja okukebera bwʼonsasudde. Bwʼolisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo nʼeya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”
34Labbaani nʼamuddamu nti, “Ekyo kirungi. Kale kibeere bwe kityo nga bwʼogambye.”
35Naye ekiro ekyo Labbaani nʼaggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga nʼeza bitanga, nʼembuzi enkazi zonna eza bugondogondo nʼeza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu nʼaziwa abaana be bazirunde;
36nga beesudde ebbanga eritambulirwa ennaku ssatu okuva ku ye okutuuka ku Yakobo. Yakobo ye nʼalunda ezo ezaasigalawo ku kisibo kya Labbaani.
37Awo Yakobo nʼaddira obuti bwʼomulibine omubisi, nʼobwʼomusakedi, nʼobwʼomwalamoni nʼabususumbulako ebikuta mu bukuubo.
38Nʼasimba obuti bwʼasasambudde mu maaso gʼebisibo ku byʼesero ensolo we zanyweranga.
39Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso gʼobuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, nʼeza bugondogondo nʼeza bitanga.
40Yakobo nʼayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala nʼazitunuza okwolekera eza biwuuga nʼenzirugavu eza Labbaani. Bwʼatyo ne yeekolera ebisibo ebyʼenjawulo, nʼatagatta zize na za Labbaani.
41Buli nsolo enkazi ezʼamaanyi bwe zaabanga zigenda okuwaka nga Yakobo ateeka ku byʼesero obuti bwe buli okwolekera ensolo ezigenda okuwaka, ziwakire okumpi nabwo.
42Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ezʼamaanyi ne zibanga za Yakobo.
43Mu ngeri eyo Yakobo nʼagenda ngʼagaggawalira ddala nnyo, nʼafuna ebisibo bingi ddala, wamu nʼabaweereza abakazi nʼabasajja; era nʼafuna nʼeŋŋamira nʼembalaasi.