1Awo Yakobo nʼawulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mwʼaggye obugagga buno bwonna.”
2Era Yakobo nʼalaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.
3Awo Mukama nʼagamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.”
4Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo.
5Bwe baatuuka nʼabagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange.
6Mumanyi bwe naweerea kitammwe nʼamaanyi gange gonna.
7Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya nʼakyusa empeera yange nʼagikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda nʼatamukkiriza kundeetako kabi.
8Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’
9Bwʼatyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze nʼazimpa.
10“Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga ne za bugondogondo ne za kiweewoweewo.
11Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda nʼampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
12Nʼaŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo nʼeza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani byʼakukoze.
13Nze Katonda wʼe Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”
14Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe.
15Era atutwala ngʼabatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa.
16Ebyʼobugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe nʼabaana baffe. Kale kaakano buli Katonda kyʼakugambye okukola kikole.”
17Awo Yakobo nʼagolokoka, nʼateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira;
18nʼagoba ente ze zonna, nʼebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.
19Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri nʼabba bakatonda bʼomu nnyumba ya Labbaani.
20Yakobo nʼadduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti Amuvaako agende.
21Yadduka ne byonna bye yalina, nʼagolokoka nʼasomoka omugga Fulaati, nʼayolekera Giriyaadi ensi eyʼensozi.
22Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako,
23Labbaani nʼatwala basajja be, nʼawondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi eyʼensozi.
24Naye Katonda nʼajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, nʼamugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”
25Awo Labbaani nʼatuuka ku Yakobo, eyali akubye eweema ye mu nsi eyʼensozi, Labbaani ne basajja be nabo ne basiisira mu nsi eyʼensozi eya Giriyaadi.
26Labbaani nʼagamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage?
27Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: nʼennyimba, nʼebitaasa, nʼennanga.
28Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu.
29Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, nʼaŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’
30Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?”
31Yakobo nʼaddamu Labbaani nti, “Natya, kubanga nʼalowooza nti oyinza okunnyagako bawala bo.
32Naye gwʼonoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.
33Labbaani nʼayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema eyʼabaweereza bombi; naye nʼatalaba bakatonda be. Nʼava mu weema ya Leeya, nʼayingira mu ya Laakeeri.
34Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, nʼabateeka ku matandiiko gʼeŋŋamira, nʼabatuulako. Labbaani nʼayaza weema yonna naye nʼatabalabamu.
35Laakeeri nʼagamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira wʼoli kubanga ndi mu mpisa yʼabakazi.” Labbaani nʼanoonya naye nʼatalaba bakatonda be.
36Awo Yakobo nʼalyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, nʼamugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere nʼobukaali butyo?
37Bwʼoyazizza mu bintu byange, kikyo ki kyʼosanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso gʼabantu bange nʼababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
38“Emyaka gino gyonna amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo ne mbuzi zo tezisowolanga, era siryanga ndiga mu kisibo kyo.
39Eyo eyataagulwanga ensolo enkambwe eyʼomu nsiko saagikuleeteranga, nze nafiirwanga, waginsabanga, wadde eyo eyabbibwanga ekiro oba emisana nayo yabalirwanga ku nze.
40Ekyo ne kindeetera essana okunzigwerangako, nʼokubeeranga mu mpewo ekiro, nʼotulo ne tumbula.
41Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; nʼakuweereza emyaka kkumi nʼena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi.
42Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona nʼokutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”
43Awo Labbaani nʼaddamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, nʼabaana baabwe bazzukulu bange, nʼebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange nʼabaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero?
44Kale jjangu tukole endagaano gwe nange, ebeere omujulirwa wakati wo nange.”
45Awo Yakobo nʼaddira ejjinja nʼalisimba ngʼempagi.
46Nʼagamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira
47Labbaani entuumu nʼagiyita Yegalusakadusa, ye Yakobo nʼagiyita Galeedi.
48Labbaani nʼagamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi,
49nʼempagi nʼagiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne.
50Bwʼoliyisa obubi bawala bange, oba bwʼolibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu nʼomu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
51Awo Labbaani nʼagamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno nʼempagi bye ntadde wakati wo nange.
52Entuumu eno ye mujulirwa era nʼempagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi.
53Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli,
54Yakobo nʼawaayo ssaddaaka ku lusozi; nʼayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.
55Ku makya ennyo Labbaani nʼagolokoka nʼasiibula bazzukulu be ne bawala be ngʼabagwa mu kifuba; nʼabawa omukisa, nʼaddayo ewuwe.