Olubereberye 32:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yakobo nʼakwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.

2Yakobo bwe yabalaba nʼagamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo nʼalyoka akituuma Makanayimu.

3Awo Yakobo nʼatuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri[27] mu nsi ya Edomu.

4Nʼabagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano,

5alina ente, nʼendogoyi, nʼendiga era nʼembuzi, abaweereza abakazi era nʼabasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”

6Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ngʼalina abasajja ebikumi bina.”

7Olwo Yakobo nʼatandika okutiira ddala, nʼasoberwa. Nʼayawulamu abantu be yali nabo, nʼayawulamu nʼendiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri,

8ngʼalowooza nti, “Esawu bwʼanaatuuka ku kibinja ekisooka nʼakizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”

9Awo Yakobo nʼagamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’

10sisaanira wadde akatundu akatono akʼokwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bwʼolaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri.

11Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja nʼatutta ffenna awamu nʼabakazi nʼabaana.

12Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ngʼomusenyu gwʼennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”

13Nʼalyoka asula eyo ekiro ekyo, nʼaggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina:

14embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri,

15eŋŋamira enkazi amakumi asatu nʼobwana bwazo, ente enkazi amakumi ana nʼennume kkumi, nʼendogoyi enkazi amakumi abiri, nʼendogoyi ennume kkumi.

16Nʼazikwasa abaddu be, buli kisibo ngʼakyawudde, nʼagamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”

17Nʼalagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bwʼanaakusisinkana nʼakubuuza nti, ‘Oli muntu wʼani? Ogenda wa? Na bino byʼolina byʼani?’

18Nʼolyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo byʼaweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ”

19Bwʼatyo era nʼalagira nʼowokubiri nʼowookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu,

20era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya nʼekirabo ekinkulembedde, nʼoluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.”

21Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye nʼasula mu kifo we yali ekiro ekyo.

22Mu kiro ekyo Yakobo nʼagolokoka nʼatwala bakazi be bombi, nʼabaweereza be abakazi ababiri, nʼabaana be ekkumi nʼomu nʼasomokera e Yaboki.

23Nʼabatwala ne byonna bye yalina nʼabasomosa omugga.

24 Ye Yakobo nʼasigala yekka, omusajja nʼameggana naye okutuusa obudde okukya.

25Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, nʼakoma ku kinywa kyʼekisambi kye. Yakobo nʼatandika okuwenyera nga bwʼameggana nʼomusajja.

26Omusajja nʼalyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”

26Naye Yakobo nʼayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.”

27Omusajja nʼamubuuza nti, “Erinnya lyo gwʼani?” Nʼamuddamu nti, “Yakobo.”

28Awo nʼamugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu nʼabantu nʼowangula.”

29 Awo ne Yakobo nʼamugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye nʼamuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo nʼamuwa omukisa.

30Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ngʼagamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”

31Enjuba nʼevaayo ne mwakako nga bwʼasala Penieri, ngʼawenyera olwʼobuvune mu kisambi kye.

32Abayisirayiri kyebava batalya kinywa kyʼekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.

>