1Awo Yakobo nʼayimusa amaaso ge nʼalaba Esawu ngʼajja ngʼali nʼabasajja ebikumi bina. Yakobo nʼalyoka ayawulamu abaana abaali ne Leeya ne Laakeeri awamu nʼabaweereza be abakazi ababiri.
2Abaweereza nʼabaana baabwe ne bakulembera, Leeya nʼabaana be ne baddako, Laakeeri ne Yusufu ne basembayo.
3Ye Yakobo ngʼabakulembedde, nga bwʼavuunama ku ttaka emirundi musanvu, okutuusa lwe yatuuka okumpi ne muganda we.
4Naye Esawu nʼadduka okumusisinkana, nʼamulamusa ngʼamugwa mu kifuba nʼamunywegera; bombi ne bakaaba.
5Esawu bwe yayimusa amaaso ge nʼalaba abakazi nʼabaana, nʼabuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo nʼamuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”
6Awo abaweereza be abakazi nʼabaana baabwe ne basembera, ne bavuunama, mu ngeri yʼemu.
7Leeya nʼabaana be nabo ne basembera ne bavuunama. Oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera nabo ne bavuunama.
8Esawu nʼabuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo nʼaddamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.”
9Naye ye Esawu nʼamugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, byʼolina beera nabyo.”
10Yakobo nʼamuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ngʼokulaba amaaso ga Katonda, olwʼekisa ekyo kyʼonnyaniririzzaamu.
11Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bwʼatyo Esawu nʼakikkiriza.
12Awo Esawu nʼagamba nti, “Kale tutambule, nze nzija okukukulemberamu.”
13Naye Yakobo nʼamuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti Abaana banafu, era nʼebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa.
14Mukama wange kʼaleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula yʼebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula yʼabaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.”
15Awo Esawu nʼagamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo nʼamuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.”
16Bwʼatyo Esawu nʼaddayo ku lunaku olwo mu Seyiri.
17Naye Yakobo nʼalaga mu Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, nʼazimbira ne nsolo ebisiisira; ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Sukkosi.
18Era Yakobo nʼatuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ngʼava e Padanalaamu, nʼasiisira okwolekera ekibuga.
19
20Nʼazimbira eyo ekyoto nʼakiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.