1Awo Dina muwala wa Leeya gwe yazaalira Yakobo, nʼagenda okukyalira abakazi abʼomu nsi eyo.
2Sekemu mutabani wa Kamoli Omukiiti omufuzi wʼensi eyo nʼamulaba nʼamukwata nʼamusobyako.
3Omwoyo gwa Sekemu ne gutwalibwa Dina muwala wa Yakobo, nʼamwagala nʼayogera naye ebigambo ebiweweevu.
4Sekemu nʼalyoka agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala ono abeere mukazi wange.”
5Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, nʼaba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda.
6Kamoli kitaawe wa Sekemu nʼagenda eri Yakobo okwogera naye.
7Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olwʼokukola ekyʼekivve era ekitasaana mu Isirayiri.
8Kyokka ye Kamoli nʼayogera nabo ngʼagamba nti, “Omwoyo gwa mutabani wange gwegomba nnyo muwala wo, nkwegayirira mumuwe amuwase.
9Kkiriza tufumbiriganwenga, otuwe bawala bo, nammwe muwasenga bawala baffe.
10Munaabeeranga mu ffe, era mukolenga buli kye mwagala mu nsi yaffe. Mubeeremu era musuubuliremu, mugaggawale nnyo.”
11Sekemu naye nʼayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa.
12Munsabe ebyobuko ebirabo nʼebigenderako, byonna nzija kubibawa nga bwe binaaba binsabiddwa; kye muba munkolera kwe kumpa omuwala abeere mukazi wange.”
13Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina.
14Ne babagamba nti, “Ekyo tetusobola kukikola okuwa mwannyinaffe omuntu atali mukomole, kubanga kya muzizo gye tuli.
15Kye muteekwa okukola, tulyoke tukkirize, kwe kufuuka nga ffe nga buli musajja mu mmwe akomolebbwa.
16Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu.
17Naye bwe mutakkiriza kukomolebwa, kale tunaatwala muwala waffe ne tugenda.”
18Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli ne mutabani we Sekemu.
19Era omuvubuka teyalwa kukomolebwa, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo ye yali asinga okussibwamu ekitiibwa mu baana ba Kamoli bonna.
20Awo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki
21Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe.
22Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe.
23Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe nʼensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.
24Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru wʼekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru wʼomulyango gwʼekibuga nʼakomolebwa.
25Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja.
26Battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne beetambulira.
27Awo batabani ba Yakobo ne bagwa ku munyago ne banyaga ekibuga olwa mwannyinaabwe.
28Ne batwala ebisibo byʼendiga, amagana gʼente, nʼembalaasi, na buli ekyali mu kibuga ne ku ttale.
29Nʼobugagga bwonna, nʼabaana bonna awamu nʼabakazi, na buli ekyali mu mayumba, byonna ne babiwamba ne babinyaga.
30Awo Yakobo nʼagamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna abʼomu nsi, Abakanani nʼAbaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze nʼennyumba yange yonna.”
31Bo ne bamuddamu nti, “Lwaki yayisa mwannyina ffe ngʼomwenzi?”