1Katonda nʼagamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”
2Awo Yakobo nʼagamba abʼomu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe,
3tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ezʼokunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze.
4Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, nʼempeta ezaali ku matu gaabwe;
5Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda nʼegwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.
6Yakobo nʼajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye nʼabantu bonna abaali naye.
7Nʼazimba eyo ekyoto, nʼakituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.
8Debola omujjanjabi wa Lebbeeka nʼafa nʼaziikibwa wansi wʼomuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi.
9Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda nʼamulabikira, nʼamuwa omukisa.
10Katonda nʼamugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri.
11Katonda nʼamugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga ne nkuyanja yʼamawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe.
12Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa nʼezzadde lyo eririddawo.”
13Awo Katonda nʼalinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.
14Yakobo nʼasimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi eyʼejjinja; nʼagiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, nʼayiwako nʼamafuta.
15Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye nʼakiyita Beseri.
16Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri nʼalumwa, nʼalumwa ddala nnyo.
17Bwe yali ngʼalumwa bwʼatyo omuzaalisa nʼamugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.”
18Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ngʼafa, nʼamutuuma Benoni, naye kitaawe nʼamuyita Benyamini.
19Awo Laakeeri nʼafa nʼaziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu).
20Yakobo nʼasimba empagi ku malaalo ge, yʼempagi yʼamalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo nʼokutuusa kaakano.
21Isirayiri ne yeeyongera okutambula, nʼakuba eweema ye, emabega wʼomunaala gwa Ederi.
22Isirayiri bwe yali ngʼali mu nsi omwo Lewubeeni nʼagenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri nʼakiwulira.
23
24
25
26
27Awo Yakobo nʼajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
28Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana.
29Isaaka nʼafa ngʼakaddiye nnyo nʼagenda abantu be gye bagenda, ngʼamaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.