2Esawu yawasa abakazi ngʼabaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi,
3ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.
4Ada nʼazaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi nʼazaala Leweri;
5ne Okolibama nʼazaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
6Awo Esawu nʼatwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be nʼabantu be bonna, nʼente ze, awamu nʼebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; nʼagenda mu nsi eyʼewala ku ya muganda we Yakobo.
8Olwo ye Esawu, era ye Edomu, nʼabeera mu nsi eyʼensozi za Seyiri.
9Bano be bazzukulu ba Esawu, kitaawe wʼAbaedomu abaamuzaalirwa ngʼali mu nsi yʼensozi za Seyiri.
10Batabani be baali: Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.
11Batabani ba Erifaazi baali
11Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.
12Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
12
13Bano be batabani ba Leweri:
13Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.
14Nʼabaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali
14Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.
15Bano be bakulu bʼenda ya Esawu: Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu: Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi,
16ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
16
17Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:
17Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
18Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:
18Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
19Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu bʼenda zaabwe.
20Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
21ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakoli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
21
22Batabani ba Lotani baali
22Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.
23Batabani ba Sobali be ba
23Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.
24Aba Zibyoni, be ba
24Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo zʼamazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ngʼalunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
25Abaana ba Ana be ba
25Disoni ne Okolibama omuwala.
26Bo batabani ba Disoni be ba
26Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
27Aba Ezeri be ba
27Birani, ne Zaavani ne Akani.
28Ate aba Disani be ba
28Uzi ne Alani.
29Bano bonna, awamu nʼaba
29Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana be ba Kooli.
30Disoni, ne Ezeri ne Disani be bakulu bʼenda za Bakoli ngʼebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.
31Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
32Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ngʼasinziira mu kibuga kye Dinukaba.
33Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera owʼe Bozula nʼafuga mu kifo kye.
33
34Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani nʼafuga mu kifo kye.
34
35Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu nʼafuga mu kifo kye; ngʼafugira mu kibuga kyʼe Avisi.
35
36Ate Kadadi bwe yafa, Samula owʼe Masuleka nʼafuga mu kifo kye,
36
37Samula bwe yafa Sawuli owʼe Lekobosi, ku mugga Fulaati nʼafuga mu kifo kye.
37
38Sawuli bwe yafa Balukanani, mutabani wa Akubooli nʼafuga mu kifo kye,
38
39Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali nʼafuga mu kifo kye, ngʼali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
40Bano be bakulu bʼenda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe: Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
41ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
42ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
43ne Magidiyeri, ne Iramu.
43Abo be bakulu bʼenda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi yʼobutaka bwabwe.