Olubereberye 37:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Yakobo yabeeranga mu Kanani, ensi bajjajjaabe mwe baatambuliratambuliranga.

2Era bino bye bikwata ku nda ya Yakobo: Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ngʼali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo kyʼendiga, Yusufu nʼategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.

3Bwʼatyo Isirayiri nʼayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana owʼomu bukadde bwe; nʼamutungira ekyambalo ekyʼamabala amangi.

4Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa.

5Lumu Yusufu nʼaloota ekirooto, nʼagenda nʼakitegeeza baganda be, ne beeyongera nnyo okumukyawa.

6Yabagamba nti, “Muwulire ekirooto kino kye naloose.

7Twali tusiba ebinywa byʼeŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.”

8Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?” Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olwʼekirooto kye nʼebigambo bye.

9Ate nʼaloota ekirooto ekirala nʼakitegeeza baganda be, nʼagamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba nʼomwezi nʼemmunyeenye ekkumi nʼemu nga binvuunamira.”

10Naye bwe yakitegeeza kitaawe ngʼali wamu ne baganda be, kitaawe nʼamunenya ngʼagamba nti, “Kirooto ki kino kyʼoloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?”

11 Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe nʼakuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe.

12Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe.

13Isirayiri nʼalyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu nʼamuddamu nti, “Nzuuno ntuma.”

14Nʼalyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo nʼekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo nʼamutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, nʼatuuka e Sekemu.

15Awo omusajja nʼamulaba ngʼatangatangira ku ttale, nʼamubuuza nti, “Onoonya ki?”

16Nʼamuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.”

17Omusajja nʼamuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu nʼagoberera baganda be nʼabasanga e Dosani.

18Baganda be ne bamulengera ngʼakyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.

19Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja.

20Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya;[30] tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye ya mulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”

21Naye Lewubeeni bwe yakiwulira nʼagezaako okumuwonya mu mikono gyabwe nʼagamba nti, “Tetumutta.

22Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bwʼatyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.

23Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye ekyʼamabala amangi kye yali ayambadde:

24ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi.

25Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina kyʼAbayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ngʼeŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, nʼenvumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.

26Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe nʼokuyiwa omusaayi gwe?

27Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.

28 Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri.

29Lewubeeni bwe yadda nʼalaga ku bunnya nʼalaba nga Yusufu taliimu, nʼayuza engoye ze,

30nʼaddayo eri baganda be nʼabagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?”

31Awo ne baddira ekyambalo kya Yusufu, ne batta embuzi, ne bakinnyika mu musaayi.

32Ne baddira ekyambalo ekyo ekyʼamabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.”

33Nʼakyetegereza nʼagamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.”

34Awo Yakobo nʼayuza ebyambalo bye, nʼakungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene.

35Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gyʼali okumusanyusa, kyokka ye nʼatakkiriza kusanyusibwa. Nʼagamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bwʼatyo Yakobo nʼakungubagira nnyo Yusufu.

36Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa.

>