Olubereberye 38:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka Yuda nʼava ku baganda be nʼaserengeta, nʼayingira ewʼOmudulamu, erinnya lye, Kira.

2Yuda nʼalabayo muwala wa Suwa, Omukanani, nʼamuwasa, ne yeetaba naye,

3nʼaba olubuto nʼazaala omwana owoobulenzi nʼamutuuma erinnya Eri.

4Mukyala wa Yuda nʼaba olubuto olulala nʼazaala omwana omulenzi nʼamutuuma Onani.

5Ate nʼazaala omwana omulala nʼamutuuma Seera. Yamuzaalira mu Kezibu.

6Era Yuda nʼawasiza mutabani we omukulu, Eri, omukazi erinnya lye Tamali.

7Naye Eri mutabani wa Yuda omukulu nʼaba mwonoonyi mu maaso ga Mukama; Mukama nʼamutta.

8Awo Yuda nʼagamba Onani nti, “Genda eri muka muganda wo, ofunire muganda wo ezzadde.”

9Naye Onani nʼamanya nti Ezzadde teririba lirye; bwʼatyo bwe yeetaba naye, amannyi nʼagafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde.

10Ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama. Nʼono Mukama kyeyava amutta.

11Awo Yuda olwʼokutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, nʼagamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ngʼoli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lwʼalikula.” Tamali kwe kugenda nʼabeera mu nnyumba ya kitaawe.

12Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa nʼafa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, nʼagenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi bʼebyoya byʼendiga ze.

13Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya byʼendiga ze,”

14nʼasuula eri ebyambalo byʼobwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, nʼatuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ngʼogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa.

15Yuda bwe yamulaba, nʼamulowooza okuba omu ku bamalaaya, kubanga yali abisse amaaso ge.

16Nʼagenda gyʼali ku mabbali gʼekkubo, nʼamugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti Ye yali muka mutabani we. Tamali kwe kumubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?”

17Yuda nʼamuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” Nʼamubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?”

18Yuda nʼamuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” Nʼamugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu nʼomuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo nʼabimuwa, ne yeetaba naye, nʼamufunyisa olubuto.

19Tamali nʼagolokoka nʼagenda, nʼaggyako ekiremba nʼayambala ebyambalo byʼobwannamwandu bwe.

20Yuda bwe yatuma mukwano gwe Omudulamu, okutwala omwana gwʼembuzi, addizibwe omusingo teyalaba ku mukazi.

21Bwe yabuuliriza abʼomu kifo omwo, omukazi malaaya eyali Enayimu ku mabbali gʼekkubo, ne bamuddamu nti, “Wano tewabeeranga mukazi malaaya.”

22Nʼalyoka addayo eri Yuda nʼamugamba nti takubikako kimunye; era nʼabantu abʼekitundu ekyo bamutegeezeza nti, “Awo tewabangawo mukazi malaaya[31].”

23Yuda kwe kumugamba nti, “Omukazi oli, ebintu kʼabisigaze tuleme okusekererwa, naweereza embuzi eno, naye nʼatalabikako.”

24Emyezi ngʼesatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu nʼolubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bwʼagamba nti, “Mumuleete ayokebwe.”

25Tamali bwe yali atwalibwa nʼatumira sezaala we Yuda nʼamugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere nʼomuggo, byʼani?”

26Awo Yuda nʼabitegeera nʼagamba nti, “Omuwala mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.” Yuda nʼatamuddira.

27Ekiseera ekyʼokuwona bwe kyatuuka nʼalabika nga wakuzaala balongo.

28Era bwe yali mu ssanya omulongo omu nʼafulumya omukono gwe, omuzaalisa nʼagukwata nʼagusibako akawuzi akaakakobe nga bwʼagamba nti, “Ono yʼasoose okujja.”

29Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we nʼafuluma; omuzaalisa nʼagamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya lyʼomwana kyeryava liba Pereezi.[32]

30Oluvannyuma muganda we nʼafuluma nʼakawuzi akaakakobe nga kali ku mukono gwe, nʼayitibwa Zeera.

>