Olubereberye 39:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu wʼabambowa Omumisiri nʼamugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.

2 Mukama nʼaba ne Yusufu nʼaba nʼomukisa ngʼali mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.

3Ne mukama we nʼalaba nga Mukama amuwadde omukisa mu buli kyʼakola.

4Awo Yusufu nʼaganja nnyo mu maaso ga mukama we, nʼamulabiriranga, nʼamufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina.

5Okuva olwo Mukama nʼawa omukisa ennyumba yʼOmumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro.

6Awo Omumisiri nʼateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu nʼavunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga.[33]

6Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu.

7Awo olwatuuka oluvannyuma lwʼebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira nʼokwegomba era nʼamugamba nti, “Weebake nange.”

8Naye Yusufu nʼagaana, nʼagamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, nʼabiteeka byonna mu mikono gyange,

9era tewali nʼomu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu kyʼatankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo nʼokusobya eri Katonda?”

10Newaakubadde muka mukama we yamutayirira, Yusufu ye teyamuwulira na mulundi na gumu.

11Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali nʼomu mu nnyumba,

12muka mukama we nʼakwata ekyambalo kya Yusufu nga bwʼagamba nti, “Weegatte nange.” Yusufu nʼamwesimatulako, ekyambalo kye ne kisigala mu ngalo zʼomukazi wa mukama we. Ye nʼadduka nʼava mu nnyumba.

13Naye omukazi bwe yalaba ngʼasigazza ekyambalo kya Yusufu,

14nʼayita abasajja abʼomu nnyumba ye nʼabagamba nti, “Mulabe, yatuleetera Omwebbulaniya okutuduulira, yazze gye ndi okwebaka nange,

15bwʼawulidde nga ndeekaana nʼadduka nʼava mu nnyumba.”

16Awo kwe kutereka ekyambalo okutuusa mukama wa Yusufu lwe yadda eka.

17Omukyala nʼabuulira bba byonna ngʼagamba nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingidde gye ndi okunjooga.

18Naye nabadde nakaleekaana, nʼaleka ekyambalo kye gye ndi, nʼadduka nʼava mu nnyumba.”

19Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ngʼagamba nti, “Bwʼati ne bwʼati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka.

20Mukama wa Yusufu nʼakwata Yusufu nʼamuteeka mu kkomera omwasibirwanga abazzizza emisango eri kabaka.

21 Naye Mukama nʼabeera ne Yusufu, nʼamulaga okwagala kwe okutalojjeka. Nʼaganja nnyo mu maaso gʼomukuumi wʼekkomera.

22Omukuumi wʼekkomera nʼateeka abasibe bonna mu mikono gya Yusufu, era buli ekyakolebwanga nga Yusufu yʼakirinako obuvunaanyizibwa.

23Omukuumi wʼekkomera nga tafaayo ku buli ekyalinga mu mikono gya Yusufu, kubanga Mukama yali naye, era Mukama nʼamuwa omukisa mu buli kye yakolanga.

>