Olubereberye 4:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1 Adamu nʼamanya Kaawa, mukazi we, nʼaba olubuto nʼazaala Kayini nʼagamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.”

2Oluvannyuma nʼazaala muganda we Aberi.

2Aberi nʼaba mulunzi, ye Kayini nʼabeera mulimi.

3 Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini nʼalyoka aleeta ebibala byʼebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Katonda.

4 Aberi naye nʼaleeta ku baana bʼendiga ze ababereberye nʼamasavu gaazo. Mukama nʼasiima Aberi nʼekiweebwayo kye.

5Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini nʼasunguwala nnyo, ne ndabika yʼamaaso ge nʼewaanyisibwa.

6Mukama nʼabuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era nʼendabika yʼamaaso go lwaki ewaanyisiddwa?

7Bwʼonookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bwʼotokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”

8 Kayini nʼagamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini nʼagolokokera ku muganda we Aberi, nʼamutta.

9Awo Mukama nʼabuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” Nʼamuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”

10 Mukama nʼamugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi lyʼomusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.

11Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse.

12Bwʼonoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”

13Kayini nʼagamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola.

14Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”

15 Awo Mukama nʼamugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.”

16Kayini nʼalyoka ava mu maaso ga Mukama, nʼabeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olwʼebuvanjuba olwa Adeni.

17 Kayini nʼamanya mukazi we, nʼaba olubuto nʼazaala Enoka. Kayini nʼazimba ekibuga nʼakituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka.

18Enoka nʼazaalirwa Iradi ne Iradi nʼazaala Mekujeeri, ne Mekujeeri nʼazaala Mesuseera, ne Mesuseera nʼazaala Lameka.

19Lameka nʼawasa abakazi babiri: omu yali Ada nʼomulala nga ye Zira.

20Ada nʼazaala Yabali. Ono ye yali kitaawe wʼabo ababeera mu weema nga balunda.

21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga nʼokufuuwa omulere.

22Zira nʼazaala Tubalukayini omuweesi wʼebyʼekikomo nʼebyʼekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.

23 Lameka nʼagamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olwʼokunfumita, nga muvubuka, olwʼokunkuba.

24 Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”

25Awo Adamu nʼamanya mukazi we, nʼazaala omwana wabulenzi nʼamutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.”

26Seezi nʼazaala omwana owoobulenzi nʼamutuuma Enosi.

26Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.