1Oluvannyuma lwʼebyo omusenero wa kabaka wʼe Misiri wamu nʼomukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka wʼe Misiri.
2Falaawo nʼasunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero nʼomukulu wʼabafumbi,
3nʼabawaayo mu mikono gyʼomukulu wʼekkomera, Yusufu mwe yali.
4Omukulu wʼekkomera nʼabawa Yusufu okubakuuma, nʼabalabirira, ne babeera mu kkomera.
5Naye ekiro kimu omusenero nʼomukulu wa bafumbi aba kabaka wʼe Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo.
6Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, nʼabalaba nga beeraliikirivu.
7Nʼalyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”
8Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu nʼabagamba nti, “Katonda yʼabivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”
9Awo omusenero nʼategeeza Yusufu ekirooto kye nʼagamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto.
10Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu.
11Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”
12Yusufu nʼalyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu;
13mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera nʼakuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ngʼoli musenero we.
14Kyokka onzijukiranga ngʼotuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga nʼonjogerako gyʼali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera.
15Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi yʼAbaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”
16Omukulu wʼabafumbi ba Falaawo bwe yalaba ngʼamakulu gʼekirooto kyʼoli gaali malungi, nʼagamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo byʼemigaati bisatu.
17Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ngʼennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”
18Awo Yusufu nʼamuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu zʼennaku ssatu;
19bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.”
20Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, nʼakolera abaweereza be bonna embaga, nʼatumya omusenero nʼomukulu wʼabafumbi.
21Omusenero nʼamuzza ku mulimu gwe, nʼatandika okuweereza Falaawo,
22kyokka ye omukulu wʼabafumbi nʼamuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe.
23Naye omusenero nʼatajjukira Yusufu nʼamwerabira nʼatamussaako mwoyo.