1Oluvannyuma lwʼemyaka ebiri emirambirira, Falaawo nʼaloota ngʼayimiridde ku mugga Kiyira;
2laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu.
3Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lwʼomugga.
4Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo nʼazuukuka.
5Ate nʼaddamu okwebaka nʼaloota ekirooto ekirala, laba ebirimba ebyʼemmere eyʼempeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu.
6Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olwʼempewo ezʼebbugumu ezʼebuvanjuba nabyo ne biddirira.
7Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo nʼazuukuka, laba nga kibadde kirooto.
8Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; nʼatumya ne baleeta abalogo bonna abʼe Misiri, nʼabagezigezi baamu bonna; Falaawo nʼabategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo nʼomu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.
9Awo omusenero wa Falaawo nʼagamba Falaawo nti, “Ntegedde nasobya nnyo.
10Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, nze nʼomukulu wʼabafumbi nʼatuteeka mu kkomera,
11ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo.
12Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu wʼabambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali.
13Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, nʼawanikibwa ku muti.”
14Awo Falaawo nʼatumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe
15Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali nʼomu ayinza kukivvuunula.”
16Yusufu nʼaddamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda yʼanaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”
17Awo Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lwʼomugga Kiyira;
18ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu;
19ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi yʼe Misiri nazo ne zijja.
20Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose,
21naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.
22“Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu,
23nʼebirimba ebirala musanvu ebikaze olwʼempewo ezʼebbugumu ezʼebuvanjuba, nabyo ne bivaayo.
24Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo nʼomu abivvuunula.”
25Awo Yusufu nʼagamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo kyʼagenda okukola.
26Ente omusanvu ennungi gyʼemyaka musanvu nʼebirimba omusanvu ebigimu gyʼemyaka musanvu; ekirooto kiri kimu.
27Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gyʼemyaka musanvu, nʼebirimba omusanvu ebikaze olwʼempewo ezʼebbugumu ezʼebuvanjuba gyʼemyaka omusanvu egyʼenjala.
28“Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo kyʼagenda okukola.
29Wajja kubaawo emyaka musanvu egyʼekyengera mu nsi yonna eyʼe Misiri,
30naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egyʼenjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna eyʼe Misiri; enjala eribuna ensi.
31Ekyengera tekirimanyika nʼakatono olwʼenjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna.
32Ekirooto kya Falaawo kye kivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu.
33Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era owʼamagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna eyʼe Misiri.
34Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano ekyʼemmere eyʼempeke yonna mu nsi eyʼe Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egyʼekyengera.
35Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egyʼekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olwʼekiragiro kya Falaawo, bagikuume.
36Emmere eyo eriterekebwa olwʼenjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egyʼenjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”
37Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo nʼagʼabaweereza be bonna.
38Falaawo nʼagamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ngʼono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?”
39Awo Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Katonda nga bwʼakulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe.
40
41Awo Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna eyʼe Misiri.”
42Olwo Falaawo nʼalyoka aggya empeta
43Nʼamuwa nʼokutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ngʼerya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bwʼatyo Falaawo nʼamuteekawo okufuga ensi yonna eyʼe Misiri.
44Falaawo nʼagamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.”
45Falaawo nʼatuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; nʼamuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bwʼatyo Yusufu nʼatambula okubuna Misiri yonna.
46Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri. Awo Yusufu nʼava mu maaso ga Falaawo nʼagenda nʼabuna Misiri yenna.
47Mu myaka omusanvu egyʼekyengera emmere yabala nʼekamala.
48Yusufu nʼakuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egyʼekyengera nʼagiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga nʼakuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde.
49Yusufu nʼatereka emmere mpitirivu, nʼebanga omusenyu ogwʼoku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.
50Omwaka ogwʼenjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
51Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, nʼennyumba ya kitange.”
52Owookubiri nʼamutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”
53Awo emyaka omusanvu egyʼekyengera ekyali mu nsi yʼe Misiri ne giggwaako.
54
55Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olwʼemmere. Falaawo nʼagamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; kyʼanaabagamba, kye muba mukola.”
56Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu nʼasumulula ebyagi byʼemmere byonna; nʼaguza Abamisiri emmere.
57Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.