Olubereberye 42:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Yakobo bwe yategeera nga mu Misiri eriyo emmere, nʼagamba batabani be nti, “Lwaki mutunula butunuzi?

2 Mpulidde nti mu Misiri eriyo emmere, muserengete mutugulireyo emmere, tube balamu, tuleme okufa.”

3Awo baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta e Misiri okugula emmere.

4Kyokka Yakobo nʼatasindika Benyamini, muto wa Yusufu wamu ne baganda be kubanga yatya nti akabi kayinza okumutuukako.

5Bwe batyo batabani ba Isirayiri ne bajja mu Misiri wamu nʼabalala abajja okugula emmere, kubanga ensi ya Kanani yali ejjudde enjala.

6Mu kiseera ekyo Yusufu ye yali afuga Misiri; nga yʼaguza abantu emmere. Awo baganda be ne bajja ne bamuvuunamira.

7Yusufu nʼabalaba nʼabategeera, wabula nʼabayisa nga bʼatamanyi nʼayogera nabo nʼobukambwe. Nʼababuuza nti, “Muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.”

8Bwʼatyo Yusufu nʼategeera baganda be kyokka bo ne batamutegeera.

9Awo Yusufu nʼajjukira ebirooto bye ku bo. Nʼabagamba nti, “Muli bakessi; muzze kuketta nsi yaffe mulabe bwʼeri ennafu.”

10Ne bamuddamu nti, “Nedda mukama waffe; abaddu bo tuzze kugula mmere.

11Ffenna tuli batabani ba musajja omu, tuli basajja ba mazima. Abaddu bo tetuli bakessi.”

12Ye nʼabaddamu nti, “Nedda muzze kulaba obunafu bwʼensi yaffe bwe buli.”

13Ne bamuddamu nti, “Abaddu bo tuli kkumi na babiri, tuli baana ba muntu omu mu nsi ya Kanani, laba muto waffe nʼolwa leero ali ne kitaffe, nʼomulala yafa.”

14Naye Yusufu nʼalumiriza nti, “Kiri nga bwe mbagambye, muli bakessi.

15Nzija kubategeerera ku kino, ndayidde obulamu bwa Falaawo temujja kuva wano, okuggyako nga muto wammwe aleeteddwa wano.

16Mutume omu ku mmwe, aleete muganda wammwe, mwe mubeere mu kkomera, ebigambo byammwe byetegerezebwe obanga ddala bye mwogedde bya mazima. Oba si ekyo ndayidde obulamu bwa Falaawo, muli bakessi.”

17Awo nʼabateeka bonna mu kkomera okumala ennaku ssatu.

18Ku lunaku olwokusatu Yusufu nʼabagamba nti, “Mukole bwe muti okuwonya obulamu bwammwe, kubanga ntya Katonda;

19obanga ddala muli basajja bʼamazima, omu ku baganda bammwe asigale ngʼasibiddwa mu kkomera, abalala mugende mutwalire abantu bammwe emmere,

20mundeetere muto wammwe, olwo ebigambo byammwe bikakasibwe muleme okufa.” Awo ne bakola bwe batyo.

21Awo ne bagambagana nti, “Ddala tuliko omusango gwa muganda waffe, kubanga twalaba nga mweraliikirivu, bwe yatwegayirira ne tutamuwuliriza; akabi kano kyekavudde katutuukako.”

22Lewubeeni kwe kubaddamu nti, “Nnabagamba muleme kukola kabi ku mulenzi, nga mmwe temumpuliriza; kale omusaayi gwe kyeguva gutuwalanwako.”

23Ne batamanya nti Yusufu ategedde bye boogedde, kubanga bayogeranga naye nga bayita mu mutaputa.

24Awo Yusufu nʼatunula ebbali nʼakaaba, ate nʼakyuka gye bali nʼayogera nabo. Awo nʼatwala Simyoni nʼamusiba nga balaba.

25Nʼalagira bajjuze ensawo zaabwe eŋŋaano, era bazze ensimbi za buli omu mu nsawo ye, baweebwe nʼentanda; ne bibakolerwa.

26Awo ne batikka endogoyi zaabwe eŋŋaano ne bagenda.

27Naye omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye nga bali mu kifo mwe baasula, nʼalaba ensimbi ze ku mumwa gwʼensawo;

28nʼagamba baganda be nti, “Ensimbi zange baazinzirizza, ziizino mu kamwa kʼensawo yange!” Ekyo ne kibeeralikiriza, buli omu nʼatandika okutya, nga bwe bagamba nti, “Kiki kino Katonda kyʼatukoze!”

29Bwe baakomawo mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe ne bamutegeeza byonna ebyababaako, nga bagamba nti,

30“Omusajja omufuzi wʼensi yʼe Misiri yayogera naffe nʼobukambwe era nʼatuyisa nga abaali bagenze okuketta ensi ye.

31Naye ne tumugamba nti, Tuli basajja bʼamazima, tetuli bakessi,

32tuli abooluganda kumi na babiri, baana ba muntu omu, munnaffe yafa, ne muto waffe olwa leero ali ne kitaffe mu nsi ya Kanani.

33“Awo omusajja oyo omufuzi wʼensi nʼatugamba nti, ‘Ku kino kwennaategeerera nga muli beesigwa: muleke wano omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olwʼenjala eri mu maka gammwe.

34Mundeetere muto wammwe, kwe nnaategeerera nga temuli bakessi, muli basajja bʼamazima, olwo ne ndyoka mbawa muganda wammwe, mulyoke mugule emmere mu nsi eno.’ ”

35Bwe baatuuka eka, buli eyafukumulanga ensawo ye, laba ngʼomuvumbo gwʼensimbi ze mweziri. Awo bo ne kitaabwe bwe baalaba emivumbo gyʼensimbi ne batya.

36Yakobo kitaabwe nʼabagamba nti, “Munzigyeko abaana bange: Yusufu taliiwo, ne Simyoni taliiwo ne kaakano mwagala muntwaleko Benyamini!”

37Awo Lewubeeni nʼagamba kitaawe nti, “Ottanga batabani bange bombi, bwe sirikomyawo Benyamini gyʼoli; mumpe, nange ndimukomyawo gyʼoli.”

38Naye Yakobo nʼagamba nti, “Mutabani wange tajja kuserengeta nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye yʼasigalawo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu lugendo lwe mugendako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkyali munakuwavu.”

>